Amawulire

Ababaka bagobeddwa mu palamenti

Ali Mivule

February 21st, 2014

No comments

Kkooti erangiridde nti ebifo by’ababaka abana abagobwa mu kibiina kya NRM bikalu. Bano era tebagenda kuddamu kukwata ku musaala nga n’akakiiko akalondesa kalagiddwa okutegeka okulonda mu bifo gyebava Yye spiika wa palamenti omukyala Rebecca Kadaga alagiddwa obutaddamu kukkiriza babaka bano kuddamu kwetaba mu ntuula za […]

Abatebereza okutta Owe Kajansi Bakwatiddwa

Ali Mivule

February 21st, 2014

No comments

  poliisi ekakasizza okukwatibwa kwabamu  ku bateberezebwa okutta eyali atwala poliisi ye Kajansi Joseph Bigirwa. Bwabadde ayogerako eri banamawulire e Lugogo ssenkagale wa poliisi  Gen. Kale Kayihura ategezezza ng’omugenzi bweyasobola okukuba essasi omu ku bazigu,eyasangidwa mu ddwaliro e Hoima ng’ajanjabibwa ebiwundu. Bano bakwatidwa ekitongole kya […]

Ababaka bagobwe mu palamenti- Kkooti

Ali Mivule

February 21st, 2014

No comments

  Ababaka abana abagobwa mu kibiina kya NRM kooti etaputa ssemateeka esazewo bagobwe mu palamenti. Abana bano kuliko Theodre Sekikubo owe  Lwemiyaga, Wilfred Niwagaba owa  Ndorwa ey’obuvanjuba , Mohammed Nsereko owa kampala eyo mumassekati ne Barnabas Tinkasimire owa  Buyaga ey’obugwanjuba. Abalamuzi 3 ku 5 nga […]

Omufere Akwatiddwa

Ali Mivule

February 21st, 2014

No comments

Poliisi ekutte omusajja agambibwa okujja  obukadde 15  ku b’enganda z’omusawo avunanibwa okukuba omwana ow’emyaka 2 empiso ya siriimu nga abasuubizza omuntu wabwe okweyimirirwa awoze nga ava bweru. Kob Mpango  yakwatiddwa olwaleero ku kooti enkulu oluvanyuma lw’abenganda bano okumusalira amagezi nebamukubira essimu olwo poliisi nemukwata. Omwogezi […]

Namukadde alumirizza muzzukulu we okumukaka omukwano

Ali Mivule

February 20th, 2014

No comments

Abadde katemba ku ddwaliro e Kawolo,omukyala ow’emyaka 72 b’walumirizza muzzukulu we okumukaka omukwano Josephine Namusisi alumirizza muzzukulu we Moses Kibirango nga bonna batuuze ku kyaalo Nakusubyaako e Kawolo Omukyala ono agambye nti ku lunaku olwo muzzukulu yamukonkona mu kiro n’agaana okumuggulira era yakozesa lyaanyi okweggulira […]

Omupoliisi attiddwa mu bubbi

Ali Mivule

February 20th, 2014

No comments

Poliisi ekakasizza okuttibwa kwa musajja waayo mu bubbi Dan Kato attiddwa abantu abakaaye obugo oluvanyuma lw’okumusanga ng’amaze okutta omusajja gw’abadde agezaako okubbako emmotoka. Kato ono ne munne atolose bapangisizza omusajja ono abadde avuga mmotoka kika kya Noah kyokka nga bwebatuuse mu kkubo nebamusiba omuguwa mu […]

Okukuba ku Nyama kikyaamu

Ali Mivule

February 20th, 2014

No comments

Ab’ebibiina ebirwanirira eddembe ly’obuntu bategezezza nga ekyokukuba ku nyama okutta ababissa emmundu bwekitali kyakuddamu okumalawo bubbi bw’emmundu n’obutemu mu ggwanga. Bano bagamba poliisi yandyongedde maanyi mu bukessi nakubeera bulindaala okulwanyisa obuzzi bw’emisango. Akulira akakiiko akalwanirira eddembe ly’obuntu mu ggwanga  Meddie Kaggwa agamba kino kisoboka nga […]

Bad Black bimutabukidde

Ali Mivule

February 20th, 2014

No comments

Mwana muwala Shanita Namuyimbwa bangi gwebamanyi nga Bad Black byongedde okumuddugalira. Ng’akayaali ku kibonerezo eky’emyaaka 4 mu kkomera olw’okufera  eyali muganzi we omuzungu David Green Hagh obuwumbi 11, nate kooti emulagidde asasule engassi ya bukadde 5 eri omuvuzi wa Bodaboda gweyatomera nga aweese mukyala we […]

Abe Kyambogo batikkiddwa

Ali Mivule

February 20th, 2014

No comments

Gavumenti emaliridde okuyingiza nga abayizi ababa batudde siniya ey’omukaaga mu yunivasite zaayo  zonna buli lusoma. Mu biseera bino yunivasite za gavumenti ziwandiisa abayizi buli mwaka nga kino kivaako omugotteko naddala mu kwewandiisa. Bwabadde ayogera ku matikira g’ettendekero lye Kyambogo minister w’ebyenjigiriza , Jessica Alupo ategezezza […]

Abalala balumirizza omusawo

Ali Mivule

February 19th, 2014

No comments

Abantu abalala babiri olwaleero bongedde okulumiriza omusawo agambibwa okukuba omwana empiso n’ekigendererwa ky’okumusiiga obulwadde bwa mukenenya. Olwaleero Mariam Sayuuni nga musirikale e wandegeya ategeezezza ng’omusawo ono RoseMary Namubiru bweyamutegeeza nti akikoze mu butali bugenderevu yadde nga teyegaana kusiiga mwana ono obulwadde Omusirikale ono agambye nti […]