Amawulire

Okukuba ku Nyama kikyaamu

Ali Mivule

February 20th, 2014

No comments

FELIX KAWEESI

Ab’ebibiina ebirwanirira eddembe ly’obuntu bategezezza nga ekyokukuba ku nyama okutta ababissa emmundu bwekitali kyakuddamu okumalawo bubbi bw’emmundu n’obutemu mu ggwanga.

Bano bagamba poliisi yandyongedde maanyi mu bukessi nakubeera bulindaala okulwanyisa obuzzi bw’emisango.

Akulira akakiiko akalwanirira eddembe ly’obuntu mu ggwanga  Meddie Kaggwa agamba kino kisoboka nga bakwataganye n’abakulu b’ebyalo ekitaliiwo kati.

Poliisi wiiki eno yatukizza enkola y’okukuba ku nyama eri ababbi b’emundu oluvanyuma lwa’ababbi okutemula eyabadde atwala poliisi ye Kajjansi , Joseph Bigirwa .