Amawulire

Bad Black bimutabukidde

Ali Mivule

February 20th, 2014

No comments

Bad black

Mwana muwala Shanita Namuyimbwa bangi gwebamanyi nga Bad Black byongedde okumuddugalira.

Ng’akayaali ku kibonerezo eky’emyaaka 4 mu kkomera olw’okufera  eyali muganzi we omuzungu David Green Hagh obuwumbi 11, nate kooti emulagidde asasule engassi ya bukadde 5 eri omuvuzi wa Bodaboda gweyatomera nga aweese mukyala we n’omwana waabwe n’abalumya.

Omulamuzi w’eddaala erisooka owa kooti ya City Hall Juliet Hatanga agamba Black wakusibwa omwaka mulamba singa tatuukiriza kino.

Black omusango guno yagukkiriza nga 11 omwezi guno era yaguzza nga 4  December 2011 wali ku acaia Avenue.