Amawulire

Namukadde alumirizza muzzukulu we okumukaka omukwano

Ali Mivule

February 20th, 2014

No comments

Abadde katemba ku ddwaliro e Kawolo,omukyala ow’emyaka 72 b’walumirizza muzzukulu we okumukaka omukwano

Josephine Namusisi alumirizza muzzukulu we Moses Kibirango nga bonna batuuze ku kyaalo Nakusubyaako e Kawolo

Omukyala ono agambye nti ku lunaku olwo muzzukulu yamukonkona mu kiro n’agaana okumuggulira era yakozesa lyaanyi okweggulira

Bweyayingira , yamwekakaatikako era naye teyebaka n’aloopa ewa LC

Ssentebe ono, Eric Mukasa agambye nti nga yakafuna okwemulugunya kw’omukyala ono yatandikirawo okunonyereza era okugoberera ebigere gyebagwiira ku ssapatu z’omuvubuka ono