Amawulire

Omukyala asse bba

Ali Mivule

February 24th, 2014

No comments

Omukyala afumise bba ekiso n’amuttirawo ng’amulanga bwenzi . Agavaayo gooleka nga Bennah Gatuganyurwe enzaalwa ya Rwanda  wabula ng’omutuuze mu kibuga Mbarara bw’akidde bba Frank Bashaija n’amufumita akaso mu kifuba akamutiddewo. Ayogerera poliisi mu kitundu kino polly Namaye  atugambye nti bano bonna babadde batunda manda mu […]

Etteeka ku bisiyaga liyise

Ali Mivule

February 24th, 2014

No comments

Etteeka ku bisiyaga limaze okuyita. President museveni amaze okussa emikono ku tteeka lino erissaawo ekibonerezo ky’omuntu okusibwa obulamu bwe bwonna ssinga asingisibwa omusnago gw’okusiyaga. Pulezidenti agambye nti kino akikoze oluvanyuma lw’okukakasa nti obusiyaga buva ku busiwuufu bwa mpisa sso ssi buzaale ng’abamu bwebaali bamutegeeza. Pulezidenti […]

E Bukasa bekalakaasa lwa Luguudo

Ali Mivule

February 24th, 2014

No comments

  Abatuuze be  Bukasa mu district ye Wakiso bazzemu okwekalakaasa lwanguudo mbi. Bano bagamba bakooye okujukizanga abakulembeze baabwe okubayiira koolansi mu luguudo lwabwe nga baling abafuuyira endiga omulele. Bagamba bizineesi zabwe tezikyatambula bulungi olw’enfuufu nga era baagala meeya wa  Kira Town council Mamerito Mugerwa abadukirire.

Etteeka ku bisiyaga likakasibwa leero .

Ali Mivule

February 24th, 2014

No comments

  Olunaku olwaleero omukulembeze w’eggwanga  Yoweri Kaguta Museveni asuubirwa okuteeka  omukono ku teeka erigufuula omusango okulya ebisiyaga mu Uganda. Omwogezi wa gavumenti Ofwono Opondo ategezezza nga eteeka lino bwerigenda okutekebwako omukono mu maka g’obukulembeze bw’eggwanga Entebbe essaawa zigenda kubeera ttaano ez’okumakya. Omukulembeze  w’eggwanga yasooka kugaana […]

kaggwa ensonyi akwatidwa

Ali Mivule

February 23rd, 2014

No comments

  E Mayuge omuvubuka atemera mu gy’obukulu 20 akwatidwa lwakwekakaatika ku kaana akateneetuka. Omukwate etegeerekese nga Moses Kamere omutuuze we Namakaakali, mu gombolola ye Imanyiro mu district yya mayuga. Aduumira police ye Mayuge Sam Opira, agambye nti ono yakozesezza shillings Bitaano okulimbalimba akaana kano okukakana […]

Akabenje katuzze mukaaga e mubende .

Ali Mivule

February 23rd, 2014

No comments

      Abantu 6 bafudde bafiiride mu kabenje akagudde ku luguudo oluvva e Mubende okuda e mityana. Kano  akabenje kagudde ku kyaalo Nakasozi ,emotoka ekika kya Fuso number UAM 183Y bweremeredwa okuwalampa olusozi neda emabega neyeeyiringula emirundi egisobye mu kkumi . Aduumira police ye […]

Abeekalakaasi basinzizza poliisi amaanyi

Ali Mivule

February 22nd, 2014

No comments

Abeekaalakaasi mu ggwanga erya Ukraine wetwogerera nga bamaze okwesogga agaali amaka g’omukulembeze w’eggwanga lino Kiddiridde poliisi okugasuulawo ng’abantu bagisinzizza amaanyi Abeekalakaasi bano tebannasalawo kuyingira mu ofiisi munda kyokka nga bebulunguludde amaka gano Omukulembeze w’eggwanga lino Omwami Victor agamba nti ali mu limu ku mawanga agaliraanye […]

Tujja kulaga ensasaanya

Ali Mivule

February 22nd, 2014

No comments

Ab’amaggye g’eggwanga bagamba nti bakunyonyola ku buli kikumi kyebakozesaa mu lutalo oluli mu ggwanga lya South Sudan. Kino kizze ng’amaggye gano gasaba obuwumbi 120 okuyambako mu bikwekweto e South Sudan Omuduumizi w’amaggye g’eggwanga Gen Katumba Wamala agamba nti amaggye galumbiddwa emirundi mingi olw’okweremeza mu ggwanga […]

Musasule abasenga ku taka ly’amaggye

Ali Mivule

February 22nd, 2014

No comments

Pulezidenti Museveni alagidde nti abantu bonna abesenza ku ttaka ly’amaggye e Nabugabo basasulwe obukadde butaano nga tebannasengulwa Pulezidenti agamba nti tayagaala bantu kubonabona kyokka ng’ate ab’amaggye g’omu bbanga balina okutendekebwa Pulezidenti obweyamo .yaabukoze ayogerako eri abantu mu magombolola ge Bukakata ne Maakungwe nga bino bisangibwa […]

Owa poliisi efiiridde ku mulimu

Ali Mivule

February 22nd, 2014

No comments

Owa polisi omulala afiiridde ku mulimu. Kenneth Wagonda, abadde O.C wa police post ye Bukasa mu district ye Wakiso afudde oluvanyuma lw’akakeba ka ttiyagaasi  okumutulikira mu kifuba. Aduumira police ye Wakiso, Kituuma Rusoke agambye nti Wagonda abadde ku mirimu gya poliisi ng’aliko gw’agenda okukwata kyokka […]