Amawulire

Omukyala asse bba

Ali Mivule

February 24th, 2014

No comments

Namaye

Omukyala afumise bba ekiso n’amuttirawo ng’amulanga bwenzi .

Agavaayo gooleka nga Bennah Gatuganyurwe enzaalwa ya Rwanda  wabula ng’omutuuze mu kibuga Mbarara bw’akidde bba Frank Bashaija n’amufumita akaso mu kifuba akamutiddewo.

Ayogerera poliisi mu kitundu kino polly Namaye  atugambye nti bano bonna babadde batunda manda mu kitundu kino.

Omukyala ono akwatiddwa avunaanibwe ogw’obutemu