Amawulire

Owa poliisi efiiridde ku mulimu

Ali Mivule

February 22nd, 2014

No comments

heavy deployment

Owa polisi omulala afiiridde ku mulimu.

Kenneth Wagonda, abadde O.C wa police post ye Bukasa mu district ye Wakiso afudde oluvanyuma lw’akakeba ka ttiyagaasi  okumutulikira mu kifuba.

Aduumira police ye Wakiso, Kituuma Rusoke agambye nti Wagonda abadde ku mirimu gya poliisi ng’aliko gw’agenda okukwata kyokka n’aseerera n’agwiira akakebe ka Ttiyagaasi akamutulikidde mu kifuba.

Bino bizze nga wakayita ssabiiti 2 ng’omupoliisi omulala akubiddwa amasasi agamutta ng’ali ku mulimu.