Amawulire

Ababaka bagobwe mu palamenti- Kkooti

Ali Mivule

February 21st, 2014

No comments

 

Mps lose seats

Ababaka abana abagobwa mu kibiina kya NRM kooti etaputa ssemateeka esazewo bagobwe mu palamenti.

Abana bano kuliko Theodre Sekikubo owe  Lwemiyaga, Wilfred Niwagaba owa  Ndorwa ey’obuvanjuba , Mohammed Nsereko owa kampala eyo mumassekati ne Barnabas Tinkasimire owa  Buyaga ey’obugwanjuba.

Abalamuzi 3 ku 5 nga bakulembeddwamu omulamuzi Richard Buteera basazeewo bano bagobwe mu palamenti nti baliyo mu bukyamu, kubanga ekibiina ekyabasindika yo kyabagoba dda.

Buteera agambye nti bano baakoma okubeera ababaka ba palamenti nga ekibiina kyabwe kibagobye.

Kooti eno era enenyezza ne sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga okusigaza ababaka bano mu palameti nga ekibiina kya NRM kimaze okubanabira mu maaso.

Omulamuzi Remmy Kasule yekka yawakanyizza ekyokugoba ababaka bano mu palamenti.

Kinajukirwa nti omubaka wa Kibuku Saleh Kamba ne member wa NRM Mary Agasha batwala okwemulugunya kabwe mu kooti ngabawakanya ekya speaker okugaana okugoba abana bano  mu parliament.

Kooti essaawa yonna yakuwa ensala yaayo ey’enkomeredde