Amawulire

Abatta ebisolo mukube ku nyama

Ali Mivule

March 1st, 2014

No comments

M7 fresh

Pulezidenti Museveni alagidde nti abo bonna abakwatibwa nga bayigga ebisolo mu malundiro bakubwe amasasi.

Pulezidenti agamba nti okuleka abantu bano nebasigala nga bajagaana , amaggye ga gebaaseemu

Omukulu ono agamba nti y’ensonga lwaki gavumenti yatandika enteekateeka z’okujjako ebibinja by’abayizzi b’ebisolo emmundu neziwebwaayo eri bannamaggye

Pulezidenti okwogera bino yabadde addamu abantu abeemulugunyizza ku ky’abayizzi b’ensolo ebava mu South Sudan ne Kenya  okutta ensolo, kko n’okusanyaawo ennimiro nga n’oluusi batta abantu bebasanga

Ono yabadde mu disitulikiti ye Kaboong ku mikolo gy’okukuza nga bwegiweze emyaka 50 bukyanga kuumiro lya bisolo erya Kidepo litandikibwa