Amawulire

Abasawo e kalangala beekalakaasizza

Ali Mivule

March 3rd, 2014

No comments

 

   Dr Diana Atiwne

Abasawo mu ddwaliro ekkulu e Kalangala bassizza wansi ebikola lwa musaala

Omu ku bakozi bano atatubuulidde mannya ge agamba nti abamu bamaze emyezi mukaaga nga tabafuna musaala.

Ate abalala bafuna bitundu.

Omusawo ono agambye nti bafunye okutegeeza bekikwatako naye nga tewali kikolebwa era nabo kwekwelakaasa olunaku lwaleero.

Kino nno kikosezza balwadde obwedda abajja nga teri abalabirira era obwedda bongerwaayo mu malwaliro amalala

Wabula yye akola ku kulondoola eby’obulamu mu maka g’omukulembeze w’eggwanga, Dr. Diana Atwine agamba nti kino kivudde ku bakola ku nkalala z’abakozi okuwaayo eziriko amannya agabulako.

Ono agamba amanya agasinga tegaliiko akawunti namba nga nebwebaweereza ssente tezituuka