Amawulire

Musasule abasomesa

Ali Mivule

March 3rd, 2014

No comments

Mande, Alupo and Bukenya

Ababaka ba palamenti abatula ku kakiiko k’ebyenjigiriza okugwa kw’abayizi mu bigezo ebitali bimu bakutadde ku basomesa butafuna musaala gumala nga kino kibamalamu amaanyi okukola omulimu gwabwe.

Ababaka okuli akiikirira abakyala b’e Lwengo Gertrude Nakabira ne  Lucy Ajoko  owa Apachi bagamba omusaala gw’amasomesa gwandiyongezeddwa olwo nabo bateeka omwoyo ku kyebakola.

Abayizi abali eyo mu  13, 353 bebagudde ebigezo nga tebatereddwa na mu daala lyonna . ssabawandiisi w’ekitongole ky’ebyebigezo mu ggwanga  Mathew Bukenya kino ye yakitadde ku bayizi butasobola kutaputa bigezo saako n’obutamanya bulungi kusoma lulimi lungereza.

Ate bwegwatuusa ku massomo ga sayansi omusango gwatekeddwa ku bayizi butamanya kukozesa bikozesebwa mu massomo gano.