Amawulire

Abadde abbye omwana akwatiddwa

Ali Mivule

March 2nd, 2014

No comments

 senkumbi

Police e Nakulabye  wano mu kampala eriko omukyala atemera mu gy’obukulu 45 gw’etaasiza ku batuuze ababadde bakaaye lwakubba baana

Atwala poliisi  ye Nakulabye Musa Tamuzadde , atubuulidde nti Beatrice Malachi  yasangiddwa n’omwana wa Robinah Nakalazi  ow’emyaka 4 gyokka, nga ono kigambibwa nti abadde yabula okumalira ddala ebbanga lya nnaku ssatu.

Malachi nga ono mutuuze we Bukasa mu kaseera kano addusiddwa mu dwaliro e mulago, bw’anawona avunaanibwe ogw’okugezaako okubba omwana.