Amawulire

Okusala obuyambi- tebannatutegeeza mu butongole

Ali Mivule

March 1st, 2014

No comments

Mbabazi

Gavumenti yakusigala ng’oyogeramu n’abaagabirizi b’obuyambi ku buyambi obuzze busalwa ku Uganda.

Bino byogeddwa ssabaminista Amama Mbabazi bw’abadde ayogerako eri bannamawulire mu kampala.

Mbabazi agambye nti wabula gavumenti tennafuna kutegeezebwa mu butongole nti banka y’ensi yonna yasazizzaamu obuyambi bw’ebadde ewa Uganda.

Mbabazi yenyamidde nti ebikolw aby’okusala obuyambi biyinza okukosa eggwanga naddala mu byobulamu nebitongole ebirala obuyambi buno gyebubadde bulaga