Amawulire

Omusajja atuze omwana ow’emyezi 6 gyokka

Ali Mivule

March 2nd, 2014

No comments

 

convictee arrested

E Bugiri  waliwo omusajja atuze omwana ow’emyezi 6 gyokka n’amutta,  oluvanyuma lw’okufuna obutakkaanya ne maama w’omwana ono.

Kigambibwa nti Peter Wanjala, omutuuze we  Butyabule , abadde bba wa maama w’omugenzi, era nga yajja naye okufumbirwa ewa wanjala , wabula bwebafunyeemu obutakaanya , wanjala n’akkira omwana n’amutuga  .

Aduumira poliisi e Bugiri Richard Musisi, atubuulidde nti omwana omugenzi ategerekese nga Edith Owora  , era nga ono maama we.

Mu kaseera kano ono omukwate akuumirwa ku poliisi e Bugiri, gyanajjiibwa okuvunaanibwa emisango gy’obutemu .