Ebyobulamu

Abazaalisa bakwongerwaako

Ali Mivule

August 22nd, 2013

No comments

Enteekateeka zikoleddwa okwongera ku basawo abazaalisa mu ggwanga. Okunonyereza kulaga nti Uganda erina abazaalisa 44000 bokka. Akulira okuwandiisa abasawo abazaalisa John Wakida, akkiriza nti ddala kituufu abazaalisa tebamala kale  nga basaana okwongerwako. Wabula ate ono ategeezeza nga gavumenti bw’etandise kawefube ow’okuwandiika abasawo abalala.

Cholera mu bukiikakkono

Ali Mivule

August 22nd, 2013

No comments

Waliwo okutya nti ekirwadde kya Cholera kyandilumba abomu district ye Amuru Omubaka w’essaza lye Kilak, Gilbert Olanya asabye ministry y’ebyobulamu okwanguw aokuddukirira abantu ng’ekizimba tekinnasamba ddagala Omubaka ono ategeezezza palamenti nti amataba agaava ku nkuba eyamaanyi mu kitundu kino naddala ku kyaalo Llego mu distrit […]

Obunene bumuyinze

Ali Mivule

August 21st, 2013

No comments

Ono yagejja n’awola. Alina kilo 610. Abadde amaze emyaka 2 nga tafuluma nyumba olw’obutesobola ng’abamuddukiridde bamenye enziji okumuyisaawo. Enyumba ye yagizimba tanaba kugejja Wa mu ggwanga lya Saudi Arabia

Mwongeze abantu emisaala

Ali Mivule

August 21st, 2013

No comments

Ekitongole ekikola ku miwendo gy’ebintu kigamba nti kyetaaga newabaawo okwongeza omusaala gw’abakozi bonna olw’ebbeeyi y’ebintu erinnya buli lukya Ekitongole kino kigamba nti ebbeeyi y’ebintu buli lukya erinnya ate ng’abantu bafuna musaala gwegumu Ng’afulumya alipoota eraga ebintu bwebizze bitambula okuva mu gw’okuna okutuuka mu gw’omukaaga, omukungu […]

Kaihura ayitiddwa ku by’ettaka

Ali Mivule

August 21st, 2013

No comments

Ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko akakola ku by’obuzimbi basazeewo okuyita senkaggale wa Poliisi Gen Kale Kaihura Gen Kaihura ayitiddwa okutangaaza ku byayogeddwa minister Aida Nantaba nti y’akulembeddemu ababba ettaka Nantaba yategeezezza nga buli w’alaga awali enkayaana z’ettaaka bw’asangawo omutwe gwa Kaihura naddala mu district […]

Aba Monitor bakiise embuga

Ali Mivule

August 21st, 2013

No comments

Kampuni ya Monitor Publications olunaku lwaleetro ekiise embuga n’okuduukirira emilimu gya ssabasajja kabaka Abakozi ba Monitor publication etwala Dembe FM batutte obukadde 2 bwebawaddeyo eri omulimu gw’okuzimba amasiro ate kko akakadde ka certificate okuddukanya emilimu gy’obw akabaka Bano bakulembeddwaamu akulira kkampuni eno Alex Asiimye ategeezezza […]

Tiketi za World Cup zitundibwa

Ali Mivule

August 20th, 2013

No comments

Tiketi z’okulaba omupiirta gw’ensi yonna ogugenda okubeera mu Brazil zitandise okutundibwa Abagaala Tiketi zino bagenda ku mukutu gwa FIFa ogwa Internet Abateesiteesi bakukubisa tiketi obukadde busatu mu emitwaalo 30 nga bagerageranyizza ku bantu abasemba okulaba empaka zino mu South Africa mu mwaka gwa 2006   […]

Nantaba alumbye Kaihura-Onemesa

Ali Mivule

August 20th, 2013

No comments

Minister akola ku by’ettaka Aidah Nantaba ayongedde okulumiriza police nga bweyetabye mu kubba ettaka naddala mu kitndu kye kayunga ky’akiikirira . Bino Nantaba abyogedde alabiseeko mu maaso g’akakiko ka parliament akakola ku by’okuzimba  akabadde katunula mu mbalirira ya ministry ye Ono ategeezeza akakiiko nti mu […]

Abasumba bajulidde

Ali Mivule

August 20th, 2013

No comments

Abasumba abana abasingisibwa omusango gw’okusiiga omusumba Robert Kayanja enziro bajulidde Omusumba, Solomion Tamale, Martin Sempa, Robert Kayiira ne Micheal Kyazze basingisibwa omusango gw’okusiiga omusumba Robert Kayanja enziro  bwebategeeza nga bwe yasiyaga abavubuka abasabira mu kkanisa ye Bano balagirwa okusasula akakadde kamu buli omu n’okukola bulungi […]

Kiprotich asiimiddwa

Ali Mivule

August 20th, 2013

No comments

Ababaka mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga basiimye emirimu egikolwa omuddusi afuuse ensonga mu ggwanga Stephen Kiprotich. Ono yeetabye mu lutuula ng’ababaka basiima omulimu amakula gw’akoze mu kutumbula eggwanga lya Uganda ku mutendera gw’ensi yonna Ekiteeso ky’okusiima Kiprotich kireeteddwa minister w’ebyemizannyo,, Jessica Alupo nekiwagira omubeezi we Kamanda […]