Amawulire
Abavuganya bajulidde
Ababaka b’oludda oluvuganya gavumenti bakwanze sipiika ekiwandiiko ekiwakanya okuwumuza banaabwe okumala entuula ssatu. Akulira oludda oluvuganya Nathan Nandala Mafaabi agamba baagala sipiika asazeemu ekyasaliddwawo omumyuka we Jacob Oulanya kubanga yakikoze mu bukyamu ekintu kyebatayinza kukiriza. Mafabi alumirizza nga olanya bw’azze nga akola ensobi mu ntuula […]
Akakiiko kafundikidde ku Lukwago
Lord mayor wa kampala Erias Lukwago akyagenda maaso n’okwewozako maaso g’akakiiko akawulira okwemulugunya kaba kansala 17 abaagala okumujjamu obwesige. Munamateka wabakansala bano Kiryoowa Kiwanuka alumiriza Lukwago okulemererwa okuyita enkiiko ezabulijjo neyemalira ku zeyayitanga nga alina ekigendererwa. Agattako nti mu mateeka buli luvanyuma lwa myeezi […]
Abalina obulemu baboolebwa
Abaana abalina obulemu ku mibiri gyaabwe bakyabolebwa naddala mu mawnaga agakyakula Abaana bano ababalabirira mu masomero n’awaka batuuka n’okubakuba Okuzuula bano, abanonyereza beebuzizza ku bantu abalabirira abaana bano emitwalo ena n’ekitundu Kino kyongera okukosa abaana bano era gyebigweera nga bartandise okweyawula ku banaabwe n’okwekubagiza Abaana […]
Bannayuganda bazaala nnyo
Abakugu mu nsonga z’emiwendo gy’abantu balaze okutya nti nga tewabaddewo kukoma ku bakyala kuzaala, omuwendo gw’abantu gwandikubisibwaamu emirundi 2. Kino kiddiridde ababaka abamu mu palamenti okuwakanya etteeka elikwata ku miwendo gy’abantu saabiiti ewedde Akulira ekitongole ekikola ku nsonga z’emiwendo mu ggwanga Charles Biremera agamba nti […]
Bibasobedde
Abaagalana babiri ababadde bagenda va okubwa empeta emitima gibavuddemu n’eby’okwemoola nebabivaako ekizimbe bwekiyiise nga bayitawo. Bano babadde batuuka bwebati ku lutikko webabadde bagenda okugattibwa ekizimbe nekiyiika ku muliraano buli omu n’ateekako kakokol atondeka nyuma okubadde ne Reverand yennyini abadde alina okubagatta Ekirungi nti tebakoseddwa kyokka […]
Tewali ddagala
Ministry y’ebyobulamu enyonyodde ekivudde ebbula ly’eddagala lya ARVs mu malwaliro ga gavumneti Minister omubeezi ow’ebyobulamu, Ellioda Tumwesigye agamba nti kino kivudde ku bantu abamira eddagala lino okweyongera Tumwesigye agamba nti balowooza ku bantu emitwalo 10 abapya okukozesa eddagala lino kyokka nga bakafuna abantu emitwaalo kkumi […]
Loodi Meeya azzeeyo mu kakiiko
Loodi meeya w’ekibuga Ssalongo Erias Lukwago yegaanye ebimwogerwaako nti tayagala kukolagana na gavumenti kko ne executive director Jennifer Musisi. Lukwago abadde addamu byayogerwa musisi nti Lukwago aludde nga yepena emikolo gya gavumenti naddala egiliko president Museveni. Lukwago ategeezezza akakiiko nti tategeezebwa ku mikolo gino nga […]
Ababaka bawumuziddwa
Ababaka basatu bawumuziddwa mu palamenti Ababaka bano kuliko SSemuju Nganda, Theodre ne Odonga Otto. Bano kigambibwa okuba nga bano beeyisizza mu ngeri etasaana bwebabadde bateese ku tteeka elikugira abantu okukuba enkungaana. Babawadde ekibonerezo kya myezi esatu nga tebateesa Ababaka bano bakaligiddwa amyuuka spiika Jacob Olanya.
Buganda afunye obuyambi
Ng’enteekateeka z’amatikkira ga Ssabasajja zigenda mu maaso, amakampuni agenjawulo gawaddeyo ebintu ebigenda okukozesebwa ku mukolo guno. Kampuni ya MTN olwaleero eyunze ekizimbe kya Twekobe ku mutimbagano gwa internet egenda okukozesebwa ku mukolo. Bo aba kampuni ya coca cola bawaddeyo soda ne box z’amazzi 5000 eri […]