Amawulire

Ettaka lizzeemu okubikka abe Buduuda

Ali Mivule

August 10th, 2013

No comments

Ettaka lizzeemu okubumbulukuka e Buduuda Emiruka ebiri gibikkiddwa nga kuno kwekuli ogwe Namirumba ne Matua nga byonna bisangibwa mu gombolola ye Bushiyi mu district ye Buduuda Abantu abali mu 8,000 bebakoseddwa kyokka nga ku luno katonda ayambye tewali afudde. Ettaka lino era liyiise mu mugga […]

Ttiyagaasi e Mukono

Ali Mivule

August 9th, 2013

No comments

  Poliisi e Mukono ekubye omukka ogubalagala okugugumbulula abatunzi b’embaawo ababadde beekalakaasa Bano ekibaggye mu mbeera ye poliisi gyebagamba nti ekyagaanye okukwata basajja baayo abatta munaabwe eyali ataasa omulala gwebaali basikamu ssente nga bamukutte atambuza embaawo Swaibu Kalibbala yakubwa amasasi mu kifuba ne ku mutwe […]

Gogolo w’embizzi

Ali Mivule

August 9th, 2013

No comments

Omulunzi mu ggwanaga lya Holland alumya Omusajja ono agulidde embizzi ze gogolo n’okuzikolera swiiming pool weziwugira Embizzi zino zisooka kuyita mu gogolo okutuuka ku kidiba omuwugirwa era nga zirabiddwaako nga zinyumirwa okufaako obufi

Aba mexico beebasingamu ba ssemudigu

Ali Mivule

August 9th, 2013

No comments

Eggwanga lya America kyaddaaki lifunye alirivvula mu kubeera n’abantu abanene. Eggwanga lya Mexico kati lyelisingamu abantu abanene mu nsi yonna. Alipoota enoe koleddwa ekibiina ky’ensi yonn ekikola ku by’emmere. Aba mexico abawerera ddala ebitundu 32 ku buli kimu beebanene ennyo  okwawukanako ne America eri ku […]

Okugema omusujja gw’ensiri

Ali Mivule

August 9th, 2013

No comments

Abanonyereza ku ddagala erigema obulwadde bw’omusujja gw’ensiri baliko webatuuse. Eddagala lino balikozesezza ku bantu 15, 12 nebatafuna bulwadde buno kyokka nga kyeyolesse nti omuntu okumugema olina okumuwa eddagala elinonyerezebwaako eriwera Abantu bano eddagala lino lyabakubiddwa mu mpiso era nga kyazuuse nti emibiri gyaabwwe gyayongedde okuguma […]

Ekirwadde ekitategerekeka

Ali Mivule

August 9th, 2013

No comments

Ekirwadde ekitannategerekeka kyakatta abantu basatu mu district ye Mubende Omuntu akifunye alumwa olubuto era neluzimba okutuusa lw’aafa. Abantu basatu beebakafa ekirwadde kino ate nga mukaaga bali ku ndiri. Abalwadde batwaliddwa mu ddwaliro e Mulago ng’okunonyereza okuzuula ekituufu ku kirwadde kino kugenda mu maaso

Eyesittaza abantu gumusinze

Ali Mivule

August 9th, 2013

No comments

Omusajja mu ggwanga lya Australia asingisiddwa omusango gwokwesitaza abantu. Wati Holmwood yakirizza ogwokweyambula wakati mu kisawe kya rugby nga omuzayo gugenda maaso nadduka okwetolola ekisaawe kyonna. Ono mugwenyufu wabaluwa.

Akatale kagenda kuggwa

Ali Mivule

August 9th, 2013

No comments

Nga ebula mbale akatele ke Wandegeya katandike okukola mu butongole , nate abakatwalwa batandise okusaba banna Uganda bonna okubakwatizaako mu ntekateeka wenungi ayakatale kano . Kano akatale kasuubirwa okugulwawo mu ntandikwa yomwezi ogwe kkumi ,nga kawemense obuwumbi 22 bulamba. Muwejje muteesasira nga ono yye ssentebe […]

Asinga obukadde yetegekedde okufa

Ali Mivule

August 9th, 2013

No comments

Omusajja agambibwa okuba nga yasingayo obukadde munsi yonna ku myaka 130  yewunyisizza  abe Nyamitanga mu district ye Mbarara. Muzei Paul Munyambubya   yetegekera embuzi ze 6 enene ezokusalibwa nga afudde ,era asula nazo mu muzigo gwe ogwebisenge ebibiri . Avunanyizibwa ku bantu abalina obulemu ku mibiri […]

Okugaggawala kutuuse

Ali Mivule

August 9th, 2013

No comments

Abakulembeze ba district ye Wakiso, balina enteekateka gyebaleeta okuyamba abantu bamufuna mpola ,okwefunira enyumba ez’omulembe ng’ate bazitegese bulungi. Okusinziira ku akulira eby’emirimu n’abakozi David Kigenyi Naluwayiro, District eyagala abantu abo nga balina bu poloti obutono ebayambe bayige okubukulakulanya n’okubawa zi pulani. District enkola eno egenda […]