Ebyobusuubuzi

Okugaggawala kutuuse

Ali Mivule

August 9th, 2013

No comments

Wakiso

Abakulembeze ba district ye Wakiso, balina enteekateka gyebaleeta okuyamba abantu bamufuna mpola ,okwefunira enyumba ez’omulembe ng’ate bazitegese bulungi.

Okusinziira ku akulira eby’emirimu n’abakozi David Kigenyi Naluwayiro, District eyagala abantu abo nga balina bu poloti obutono ebayambe bayige okubukulakulanya n’okubawa zi pulani.

District enkola eno egenda kujiyisa mu bwangu ddala kibasobozese okumalawo enzimba embi n’omugotteko.

Naluwayiro agamba nti nga betegekera ekibuga ekinene kyebasaba edda nga kati bali mu ku kiteesaako waggulu mu ministry, bagala kibasange nga bamaze n’okuteekawo amakubo ag’enkulakulana eya nama ddala.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *