Amawulire

Ettaka lizzeemu okubikka abe Buduuda

Ali Mivule

August 10th, 2013

No comments

woman weils

Ettaka lizzeemu okubumbulukuka e Buduuda

Emiruka ebiri gibikkiddwa nga kuno kwekuli ogwe Namirumba ne Matua nga byonna bisangibwa mu gombolola ye Bushiyi mu district ye Buduuda

Abantu abali mu 8,000 bebakoseddwa kyokka nga ku luno katonda ayambye tewali afudde.

Ettaka lino era liyiise mu mugga manafwa nagwo oguzibikidde mu kadde kano.

Minister akola ku bigwabitalaze n’ebibamba, Musa Ecweru agamba nti bamaze okusaba abantu okuddukira mu kifo ekissiddwaawo eri abantu abakoseddwa

Ettaka lyasemba okubumbulukuka e Buduuda mu mwaka gwa 2010 abantu abasoba mu 50 bamale abafe.