Olwali

Entulege esibidde ku bipaapi webasalira

Ali Mivule

August 6th, 2013

No comments

Entulege ebuze okuva mu kuumiro esezza bangi bw’efunye weyewogoma Eno nno esoose kwezooba na poliisi obwedda egigoba kyokka nga bw’etuuse awali enkoloboze awasalira abantu n’esiba. Poliisi oluvanyuma lw’okusagggula ensiko ebivuddeko n’edda ku kkubo ng’asaze entulege enpo eyimiridde era tezzeemu kudduka Ababimanyi bagamba nti ebipaapi ebigifanaana […]

Abakyala abajagujagu tebayonsa

Ali Mivule

August 6th, 2013

No comments

Kizuuliddwa nti abakyala abakyala naye nga ssi bajagujagu bayonsa nnyo abaana okusinga bannaabwe abajagujagu Bino bifulumidde mu kitabo kya banansi ekifulumiramu ebivudde mu kunonyereza. Abasawo bazudde nti ba maama naddala ab’oluzaalo olumu beetaga buli kaseera okujjukizibwa ku kuyonsa basobola okunyumirwa okuyonsa abaana baabwe. Okunonyereza kuno […]

Abali embuto mwewale ebisava

Ali Mivule

August 6th, 2013

No comments

Abakyala abalya ennyo ebisava n’ebiwoomerera nga bali embuto bali mu bulabe bw’okuzaala abaana abanywa omwenge n’ebiragalaragala nga bakuze. Bino bizuuliddwa Dr Nicole Avena aludde ng’akola okunonyereza Okunonyereza okwavuddemu bino yakukoze ku mmese nnya okumala emyezi 3. Kyazuuliddwa nti mu bbanga eryo emmese ezaalidde ebisaba n’ebiwoomerera […]

Bakwekalakaasa lwa ddwaliro

Ali Mivule

August 6th, 2013

No comments

Abatuuze mu gombolola ye Kyondo mu district ye Kasese bateekateeka kwekalakaasa nga bawakanya eky’okukoma okugaba ebitanda mu ddwaliro lye Kyondo. Ssabiiti ewedde, akulira ebyobulamu mu district eno Dr Peter Mukobi okukoma okugaba ebitanda Bano baali abakulu babajjako emitwaalo 2 ate abato mutwaalo ate ng’abakyala abazaala […]

Abasawo bakyadduka ensasula embi.

Ali Mivule

August 6th, 2013

No comments

Omuwendo gw’abasawo abadduka mu ggwanga buli lukya gwandikosa ebyobulamu mu ggwanga Abasawo abali mu 2000 beebagambibwa okuba nga bakadduka mu ggwnaga mu myaka 10 emabega ng’abasinga nsasula n’embeera mwebakolera y’ebatawanya. Minister akola ku byobulamu, Dr Ruhakana Rugunda akkirizza nti ddala bakyalina obuzibu mu kusasula abasawo […]

Akakiiko akalondesa katandise

Ali Mivule

August 6th, 2013

No comments

Akakiiko akalondesa katandise okwetegekera omwaka 2016 Akakiiko kano kakutandika okutereeza ebikwatagana ku bifo ebirondebwaamu  nga kino kyakutandika nga 19 omwezi guno kuggwe nga 26 omwezi gwegumu. Ng’ayogerako eru bannamawulire enkya ya leero, akulira akakiiko akalondesa, Eng Badru Kiggundu agambye nti bagaala kumanya ebifo bimeka ebigenda […]

Emirimu ngikoze kinnawadda

Ali Mivule

August 6th, 2013

No comments

Loodi Meeya erias Lukwago agamba nti mukakafu nti emirimu gye agikoze kinnawadda. Ng’alabiseeko mu kakiiko akanonyereza kya ba councillor abagaala agyibweemu obwesige, Lukwago agambye nti KCCA ebadde yeyubula ng’ebifo ebisinga bikalu Ono asonze ku bakulira ebiwayi bya KCCA ebitali bimu abakalondebwa, abakulira abakozi ku magombolola […]

Omuzungu yetidde ku Sheraton

Ali Mivule

August 6th, 2013

No comments

Poliisi etandise okunonyereza ku muzungu enzaalwa ye Spain agambibwa okuba nga yesse Florensa Detran yabuuse okuva ku mwaliro gwe 12 ogwa wooteri ya Sheraton n’afiirawo. Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano, Ibin Senkumi agamba nti bakwataganye n’ekitebe kya Spain kuno okufuna ebisingawo n’okumanya kiki ekyaviiriddeko […]

Tewali ddagala liweweza mukenenya

Ali Mivule

August 5th, 2013

No comments

Ebbula ly’eddagala eriweweeza ku bulwadde bwa mukenenya litandise okuluma abalyetaaga Mu malwaliro agasnga gyebalaga okulifuna babagobawo. Akulira ekibiina ekigatta abantu abalina obulwadde buno Margret Happy agamba nti aba Busia beebasinze okukosebwa ng’ab’eddwaliro ekkulu katia te bazze mu bulwaliro butono. Ono asabye gavumenti okwetegereza okulaba amalwaliro […]

Abadde ku ndiri emyaka 45

Ali Mivule

August 5th, 2013

No comments

Abantu bangi balwaala kumala nnaku nebekyaawa. Naye obadde okimanyi nti waliyo omuntu eyakamala ku kitanda emyaka 45 Paulo Machado obulamu bwe bwonna kyenkana abumaze mu ddwaliro oluvanyuma lw’okugongobala nga mwana muto. Ono abeera ku byuuma ebiyamba okussa essaawa 24. Ekyewunyisa nti omusajja ono obulamu teyabuvaako […]