Amawulire

Akakiiko akalondesa katandise

Ali Mivule

August 6th, 2013

No comments

Electroal commissioner

Akakiiko akalondesa katandise okwetegekera omwaka 2016

Akakiiko kano kakutandika okutereeza ebikwatagana ku bifo ebirondebwaamu  nga kino kyakutandika nga 19 omwezi guno kuggwe nga 26 omwezi gwegumu.

Ng’ayogerako eru bannamawulire enkya ya leero, akulira akakiiko akalondesa, Eng Badru Kiggundu agambye nti bagaala kumanya ebifo bimeka ebigenda okulondebwaamu mu bitundu ebitali bimu.

Ono agamba nti mu kino abalonzi abamu bakukyuusa webalondera

Omulimu guno gugenda kumalawo obuwumbi buna.