Ebyobulamu

Abadde ku ndiri emyaka 45

Ali Mivule

August 5th, 2013

No comments

MAn in hospital

Abantu bangi balwaala kumala nnaku nebekyaawa.

Naye obadde okimanyi nti waliyo omuntu eyakamala ku kitanda emyaka 45

Paulo Machado obulamu bwe bwonna kyenkana abumaze mu ddwaliro oluvanyuma lw’okugongobala nga mwana muto.

Ono abeera ku byuuma ebiyamba okussa essaawa 24.

Ekyewunyisa nti omusajja ono obulamu teyabuvaako ng’atuula ku computer n’akola emilimu era ali mu kuwandiika ku bulamu bwe n’oluvanyuma abukolemu filimu

Omusajja ono enzaalwa ye Braizl agamba nti ayagala kuwa suubi bantu nti buli kimu kisoboka era nga bino byonna abikola ng’ali ku kagaali k’atuulako oluusi ng’akooye okugalamira

Omusajja ono agamba nt ky’asinga okusaalirwa bwebutasobola kuzannya mupiira kyokka ng’era yebaza mukama olw’okumukuumira ku nsi mu mbeera y’obulwadde okumala emyaka gino gyonna