Ebyobusuubuzi

Tetujja kuzizza

Ali Mivule

August 9th, 2013

No comments

Abasuubuzi b’omukatale ka St Balikuddembe basekeredde gavumenti ku ky’okuzzaayo obuwumbi 10 obwabaweebwa mu bibiina byaabwe eby’okwekulakulanya. Kino kiddiridde omuwabuzi wa president ku by’obufuzi  Moses Byaruhanga, okulabula abasuubuzi bonna n’abavuzi ba bodaboda abazifuna okuzisasula mangu. Ssentebe w’ekibiina kya  St. Balikkudembe saving and credit society, John Baptist […]

Ababaka abava mu Buganda baweze

Ali Mivule

August 7th, 2013

No comments

  Ababaka ba palamenti abava mu bitundu bya Buganda balayidde okuwakanya etteeka lyonna eriyinza okukosa Obuganda Nga basisinkanyeemu katikkiro e Bulange Mengo, ababaka bano basuubizza okwogera n’eddoboozi ery’omwanguka ku nsonga za Buganda era mu kyo nebasuubiza n’okuperereza banaabwe okubawagira Ng’ayogerako eri ababaka bano, Kamala byonna […]

Obubaka bwa Ssabasajja obwa Eid

Ali Mivule

August 7th, 2013

No comments

Ssabasajja Kabaka ayagalizza abayisiraamu Eid ey’emirembe n’essanyu n’abasaba okusaba nti obuli bw’enguzi  busalirwe amagezi Mu bubaka we eria bayisiraamu, Kabaka agambye nti obuli bw’enguzi kizibu kya maanyi ekyetaaga ekis akya katonda Ono era asabye abayisiraamu okusigala nga beeyis abulungi n’okwagalaa Abayisiraamu bakukwata Eid oluvanyuma lw’okumalako […]

Omuliro ku kisaawe

Ali Mivule

August 7th, 2013

No comments

Omuliro gukutte negusanyawo bya bukadde ku kisaawe ky’enyonyi ekya Jommo Kenyata mu kibuga Nairobi. Tewali Muntu alumiziddwa okusinziira ku kitongole ekiddukanya eby’entambula by’enyonyi ekya  Kenya Airports Authority . Ekiviiriddeko omuliro guno tekinategerekeka wabula nga ebyentambula byenyonyi bbyo bisanyaladde . President we ggwanga lino Uhuru Kenyata […]

Tongaana kunywa naawe

Ali Mivule

August 6th, 2013

No comments

Omusajja mu ssaza Lya Ohio mu ggwanga lya Amerika akubye munne essasi lwakumugaana kuvuga nga atamidde. Java Bowling  43, akubye munne ekyaasi abadde amuggyako ebisumuluzo by’emotoka oluvanyuma lwokukongojja omumbejje namaalwa ate nga nayagala kwepampalika ku nkata avuge. Entabaza bakadde emuweddeko ali mabega wamitayimbwa nga aguddwako […]

Teri magoba ku mabanja

Ali Mivule

August 6th, 2013

No comments

Gavumenti ekkirizza enkola ya banka ezikolera ku mateeka g’obuyisiramu okutandika okukola mu ggwanga. Minister w’ebyamawulire n’okulungamya eggwanga  Rose Namayanja ategezezza nga  ministry y’ebyenfuna bw’egenda okuddamu okwekenenya eteeka erikwata ku zi banka, enkola eno etambule bulungi. Agamba enkola eno yakuyamba abantu okwewola sente okutali magoba .

Gavumenti etambula ku Buganda

Ali Mivule

August 6th, 2013

No comments

Gavumenti egamba nti eli mu kutonda wo kakiiko akanateesa ku ngeri y’okuddizaamu Buganda ebyaayo Kiddiridde president museveni okukkiriza okuzza ebya Buganda ebimu omuli ettaka ly’amagombolola, n’ensimbi buwumbi 20 mengo bw’ebanja   Omwogezi wa gavumenti Rose Namayanja agamba nti tebatudde bakola kyonna ekisoboka okulaba nti Buganda […]

Abasomesa e Makerere ssibakusomesa

Ali Mivule

August 6th, 2013

No comments

Abasomesa mu ttendekero ekkulu e Makerere bakkiriziganyizza okussa wansi ebikola Kino kiddiridde olukiiko lwebatuddemu bonna nebassa kimu nga nkuyege nti teri kusomesa. Bano kyebagaala kwekwongezebwa omusaala ebitundu 100 ku 100 eby’omusaala. Omwogezi waabwe Lius Kakinda agamba nti bakooye ebisuubizo nga bagaala bikolwa Kino kigenze okubaawo […]

Baasi endala zizze

Ali Mivule

August 6th, 2013

No comments

Baasi z’awakula ennume zitandika okukola olunaku lw’enkya Baasi zino zigenda kutandikira ku luguudo lwe Gayaza KCCA yawadde aba kkampuni eno kutandika emilimu olunaku lwajjo Omwogezi wa kkampuni eno, Charles ssentongo agamba nti bagenda kutandika ne baasi 25 nga abazagaala bakusasulanga shs 1000 okuva e gayaza […]

Bano babbira ne mu Kabuyonjo

Ali Mivule

August 6th, 2013

No comments

Nga techonologiya ajja akula, n’abagezi beyongera. Mu ggwanga lya America, abantu abagezigezi bayize engeri y’okunyagululamu abali mu kabuyonjo. Kino kiddiridde abazigu bano okuzuula nti buli Muntu lw’abeera mu kabuyonjo ebirowoozo bitambula nnyo neyerabira n’ebyamututteyo. Kati nno abazigu bano bayiiyizza kabuyonjo ezituulibwaako naye ng’omuntu olugibeerako, wabaawo […]