Olwali

Tongaana kunywa naawe

Ali Mivule

August 6th, 2013

No comments

amukubye essasi

Omusajja mu ssaza Lya Ohio mu ggwanga lya Amerika akubye munne essasi lwakumugaana kuvuga nga atamidde.

Java Bowling  43, akubye munne ekyaasi abadde amuggyako ebisumuluzo by’emotoka oluvanyuma lwokukongojja omumbejje namaalwa ate nga nayagala kwepampalika ku nkata avuge.

Entabaza bakadde emuweddeko ali mabega wamitayimbwa nga aguddwako gwa kugezako kutta muntu.