Amawulire

Kiprotich asiimiddwa

Ali Mivule

August 20th, 2013

No comments

Kips

Ababaka mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga basiimye emirimu egikolwa omuddusi afuuse ensonga mu ggwanga Stephen Kiprotich.

Ono yeetabye mu lutuula ng’ababaka basiima omulimu amakula gw’akoze mu kutumbula eggwanga lya Uganda ku mutendera gw’ensi yonna

Ekiteeso ky’okusiima Kiprotich kireeteddwa minister w’ebyemizannyo,, Jessica Alupo nekiwagira omubeezi we Kamanda Bataringaya

Kiprotich yawangula emisinde gy’omutolontoko egy’ensi yonna egyaali mu Moscow Russia.

Ababaka wabula bonna basabye nti gavumenti eyongerwe ku nsimbi z’essa mu by’emizannyo bw’eba eyagala okutumbula ba Kiprotich abawera.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *