Amawulire

Nantaba alumbye Kaihura-Onemesa

Ali Mivule

August 20th, 2013

No comments

Nantaba

Minister akola ku by’ettaka Aidah Nantaba ayongedde okulumiriza police nga bweyetabye mu kubba ettaka naddala mu kitndu kye kayunga ky’akiikirira .

Bino Nantaba abyogedde alabiseeko mu maaso g’akakiko ka parliament akakola ku by’okuzimba  akabadde katunula mu mbalirira ya ministry ye

Ono ategeezeza akakiiko nti mu buli kitundu ky’abadde agendamu ewali enkaayana z’ettaka, akizudde nga police y’ebadde emabega w’okusindikiriza abantu okuva ku ttaka lyaabwe ,nga mu kino banaggagga benyini beebakolagana ne police .

Yoomu agamba nti ssabapoliisi wa uganda Kale Kaihura naye yenyigidde mu kukuuma abanyaga ettaka naddala mu bitundu bye  Kayunga.

Bino webigyidde nga Gen Kaihura yakamala okutegeeza nga yye bw’atalina mukono mu nkaayana z’ettaka e yunga nga yayitibwa kukuuma mirembe.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *