Amawulire

NRM yeeyakasinze okukola kampeyini

Ali Mivule

February 1st, 2016

No comments

Okunonyereza kulaze nga nga ekibiina kya NRM kyekikyakira ku birala mu kunonya akalulu okugenda mu maaso. Bino bifulumidde mu alipoota efulumiziddwa ab’ekibiina ekilondoola okulonda ekya  Citizens Election Observers Network Uganda. Okunonyereza kwakolebwa wakati wa November 2015 ne January w’omwak guno nga era kulaze nga NRM […]

Abavuganya boogedde ku Sejusa

Ali Mivule

February 1st, 2016

No comments

Ab’oludda oluvaganya gavumenti bategezezza nga eky’amagye okukwata General David Sejusa bwekigendereddwamu okutiisatiisa abalonzi. Gen. Sejusa mu kiseera kino akuumibwa mu nkambi y’amagye e Makindye nga era asuubirwa okuleetebwa mu kkooti y’amagye olunaku lwenkya. Omwogezi w’ekibiina kya FDC Ibrahim Ssemujju Nganda agamba wabula kino ssikyakujja bannayyganda […]

Abe Bukomansimbi batabukidde Museveni

Ali Mivule

February 1st, 2016

No comments

Abavubuka ba NRM e Bukomansimbi basanyizawo ebiyitirirwa ebyazimbiddwa okwaniriza pulezidenti Museveni mu kitundu lwabutasasulwa. Ebiyitirirwa bino bibadde bizi9mbiddwa mu katawuni ke Butenga nga bagamba baamaze obudde bwabwe okuyoyota ekitundu wabula nebatafuna mpeera yaabwe. Nga bakulembeddwamu ssentebe w’abavubuka mu gombolola ye Butenga  Ronald Jjuuko,  bategezezza nga […]

Abalwanyisa emisango lwaki balina emmundu- Bannakyeewa

Ali Mivule

February 1st, 2016

No comments

Ab’ebibiina by’obwanakyewa bakyagenda mu maaso n’okuvumirira eky’okuwa abaziyiza emisango abamanyiddwa ng aba  Crime preventers eby’okulwanyisa.   Kiddiridde ebigambibwa nti bano baweereddwa emmundu.   Kati omukwanaganya w’ekibiina kya  Citizen Coalition of election democracy in Uganda, Crispy Kaheru agamba kino kikyamu kubanga bano bandikozesa obubi emmundu zino.

Lukyamuzi wakuddamu kampeyini olunaku lw’enkya

Ali Mivule

February 1st, 2016

No comments

Omubaka wa Rubaga South John Ken Lukyamuzi addamu okukuba kampeyini olunaku lwenkya mu Ndeeba oluvanyuma lw’okussuuka omusujja gw’ensiri. Lukyamuzi akkirizza nti omusujja guno gwamukuba wansi olw’obutawummula wabula nga kati bamujanjabye mu ddwaliro e Rubaga nga era kati ali bulungi oluvanyuma lw’okuzirikira ku lukungaana.   Lukyamuzi […]

Aba NRM bafunye omusubbaawa

Ali Mivule

January 29th, 2016

No comments

Abakyala aba Uganda Women Network bakwasizza aba  NRM omusubbaawa ogwemirembe eri amyuka ssabawandiisi wekibiina Richard Todwong. Akulira UWONET Rita Aciro, agambye nti omusubbaawa kabonero ka mirembe eri bonna abagala obwa president naddala nga okulonda kusembedde. Bano bagamba bonna abegwanyiza obwa president balina abawagizi bangi eranga […]

Ebigezo bifulumye- abayizi abalenzi bakubye abawala

Ali Mivule

January 29th, 2016

No comments

Minisitule y’ebyenjigiriza efulumizza ebyava mu bigezo bya siniya eyokuna eby’omwaka oguwedde. Abayizi bakoze bulungi okusinga ku mwaka gwa 2014. Okusinziira ku ssentebe w’ekitongole ky’ebyebigezo mu ggwanga ekya UNEB Prof Mary Okwakol ,abalenzi bakoze bulungi okusinga ku bawala wabula nga n’abawala nabo bagezezzaako. Ye ssabawandiisi w’ekitongole […]

Besigye ayambalidde Kaihura

Besigye ayambalidde Kaihura

Ali Mivule

January 28th, 2016

No comments

Eyesimbyeewo ku lw’ekibiina kya FDC ku ntebe y’omukulembeze w’eggwanga Dr Kiiza Besigye akalakase ssenkaggale wa poliisi Gen. Kale Kayihura olw’okulumbanga abavuganya olutatadde. Dr Besigye abadde ayogerako eri abantu be Bukomansimbi agambye nti ebigambo bya Gen Kaihura ebitaggwa ng’ategeeza nga bw’atasobola kukkiriza bavuganya kukulembera eggwanga babikooye […]

Aba boda balemezzaawo obubenje- Alipoota

Aba boda balemezzaawo obubenje- Alipoota

Ali Mivule

January 28th, 2016

No comments

Ababodaboda abavuga ng’abeyuna eggulu bakyeremezza obubenje nga buli waggulu mu ggwanga. Bano nno batwala ebitundu 50 ku kikumi ku bubenje obugwaawo. Bino biri mu alipoota efulumiziddwa eb’ettendekero ly’ebyobulamu ku kasozi e Makerere. Okusinzira ku alipoota eno, ebiwundu ebisinga abantu byebalina mu malwaliro okuli n’erye Mulago […]

Obululu butuuse

Obululu butuuse

Ali Mivule

January 28th, 2016

No comments

Akakiiko akalondesa mu ggwanga kagumizza abantu nti obukonge bw’obululu obutuuse mu ggwanga bwakukuumibwa butiribiri. Bino Kiggundu ebyogedde yakwakwasibwa obukonge buno obujjidde mu nyonyi okuva mu South Africa gyebwakubibwa. Kiggundu agambye nti obululu obuweza tanni 67 buliko bifananyi by’abagenda okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga n’okukiika mu palamenti. […]