Amawulire

Eyatomerwa baasi asaba buyambi

Eyatomerwa baasi asaba buyambi

Ali Mivule

February 3rd, 2016

No comments

Eyatomerwa baasi ya Pioneer ayagala alabirirwe  kkampuni ya baasi zino okutuusa mukama lw’ali mujjulira. Tommy Bagenda ow’emyaka 34 agamba nti ku nga 21st November 2011 nga ali ku kagaali ke e Najeera , baasi eyali edduka obuweewo yamutomera okukkakkana ng’emumenye amagulu n’omugongo. Agamba nti baasi  […]

Abesimbyeewo bakuddamu okukontana

Abesimbyeewo bakuddamu okukontana

Ali Mivule

February 3rd, 2016

No comments

Kimaze okukakasibwa nti nga 13 omwezi guno, abesimbyeewo ku bukulembeze bw’eggwanga baakuddamu okusindana mu kukubaganya ebirowoozo. Ssabawandiisi w’olukiiko olutegese okukontana kuno Joshua Kitakule agamba nti ensonga enkulu ezigenda okwogerwaako kwekuli emirembe, eby’okwerinda, enkolagana ya Uganda n’amawanga amalala, kko n’ebya bamusiga nsimbi. Anyonyodde nti abamu ku […]

Bannamawulire basimattuse okufa

Ali Mivule

February 3rd, 2016

No comments

Bannamawulire abatambula ne pulezidenti Museveni mu kuwenja akalulu basimattuse okufiira mu kabenje Akabenje kano kagudde mu kitoogo kye Kyoja ku luguudo oluva e Masaka okudda e Mbarara mu disitulikiti ye Lwengo. Bannamawulire bano babadde batambulira mu motoka kika kya Prado evudde ku luguudo neyesogga ekitoogo […]

Poliisi ekyusizza mu ba ofiisa baayo

Poliisi ekyusizza mu ba ofiisa baayo

Ali Mivule

February 3rd, 2016

No comments

Poliisi ekoze enkyukakyuka mu basajja baayo mu kitongole ky’aboogezi Abamu ku bakyusiddwa kwekuli ababadde mu mawanga agaliraanye Uganda nga south Sudan ne Somalia nga bakuuma emirembe n’ekibiina ky’amawanga amagatte Eyali ayogerera poliisi mu Kampala n’emiriraano Ibin Senkumbi atwaliddwa Masaka kati nga y’ayogerera poliisi yaayo. Eyali […]

Owa Boda bamusse

Owa Boda bamusse

Ali Mivule

February 3rd, 2016

No comments

Poliisi ye Lwengo ekyanonyereza ku batamanya ngamba abasse omugoba wa bodaboda nebakuliita ne pikipiki ye. Omulambo gw’omugenzi gusangiddwa nga gusuliddwa mu zooni Mitti –Eduma nga era abatuuze batebereza okuba nga ono baamutidde mu kifo ekirala omulambo gwe negusulibwa ewaabwe. Wabula wabaddewo akanyolagano oluvanyuma lwa poliisi […]

Kkolera ayongedde okuzingako abe Bugisu

Kkolera ayongedde okuzingako abe Bugisu

Ali Mivule

February 3rd, 2016

No comments

Obulwadde bwa Cholera bwongedde okusasanira mu bitundu by’eggwanga ebitali bimu nga kati abantu 4 bebakakasiddwa okukwatibwa ekirwadde kino mu disitulikiti ye Bulambuli. Akulira eby’obulamu  mu disitulikiti eno  Dr Muhammadi Mulongo agamba abalwadde bano bava mu gombolola ye Muyembe wabula nga bataddewo ekifo webagenda okujanjabira bonna […]

Aba NRM balwanidde ssente

Aba NRM balwanidde ssente

Ali Mivule

February 3rd, 2016

No comments

Ssente  zekibiina kya NRM eri ba ssentebbe be byalo bannakibiina zitabudde abe Buvuma. Bano bavudde mu mbeera nebalwanagana nga balumiriza ssentebbe Herbert Mubiru okuba mbu ssi wa NRM era nebamugaana okufuna ku ssente zino. Olutalo lubadde ku kyalo Lunyanja ekisangibwa mu Town Council ye Buvuma, […]

Abakubi b’emiggo bazze

Abakubi b’emiggo bazze

Ali Mivule

February 3rd, 2016

No comments

Ekibiina ekirwanirira bannamawulire ekya  Uganda Human Rights Network kimenye obubinja bw’abakubi b’emiggo obugenda butiisatiisa bannayuganda. Bino bifulumidde mu alipoota oluvanyuma lw’okunonyereza okwakoleddwa wakati wa December 2015 ne  January 2016 ku mugaso gw’ebitongole ebikuuma ddembe mu kulonda kuno okubindabinda. Akulira emirimu mu kibiina kino Patrick Tumwine […]

Eyaloga omulamuzi gamumyuse

Eyaloga omulamuzi gamumyuse

Ali Mivule

February 2nd, 2016

No comments

Omusawo eyasangibwa lubona ng’aloga omulamuzi wa kkooti ya Buganda road asingisiddwa omusango nebamuwa ekibonerezo kya kukola bulungi bw ansi Issa Kiwanuka yasangibwa lubona ng’amansa eddagala ku ntebe y’omulamuzi. Ngalabiseeko mu maaso g’omulamuzi yenyini gweyali aloga james Eremye, omusajja ono akkirizza emisango era neyetonda. Ono avunaanibwa […]

Obululu obulala bujja

Obululu obulala bujja

Ali Mivule

February 2nd, 2016

No comments

Akakiiko k’ebyokulonda kasuubira ekitereke ky’obululu ekyokubiri okutuuka mu ggwanga olwe’eggulo lwaleero. Nga ayogerako nebannamawulire amakya galeero, ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Eng Badru Kiggundu ategezezza nmga bwebasuubira obululu 361 obwokukozesebwa mu kulonda kwokuzidisitulikiti. Kiggundu agamba obululu buno babusubira ku ssaawa 10 ez’olweggulo. Mungeri yeemu  Kiggundu ategezezza nga […]