Amawulire

Poliisi ekyusizza mu ba ofiisa baayo

Poliisi ekyusizza mu ba ofiisa baayo

Ali Mivule

February 3rd, 2016

No comments

File Photo: Kaihura nga ayogeera

File Photo: Kaihura nga ayogeera

Poliisi ekoze enkyukakyuka mu basajja baayo mu kitongole ky’aboogezi

Abamu ku bakyusiddwa kwekuli ababadde mu mawanga agaliraanye Uganda nga south Sudan ne Somalia nga bakuuma emirembe n’ekibiina ky’amawanga amagatte

Eyali ayogerera poliisi mu Kampala n’emiriraano Ibin Senkumbi atwaliddwa Masaka kati nga y’ayogerera poliisi yaayo.

Eyali amyuka omwogezi wa poliisi Vincent Sekate asindikiddwa rwizi ate nga Samson Lubega eyali e Busoga kati atwaliddwa Kira era mu bitundu bye Busoga.

Gilbert Bwana ng’ono yatutumuka olw’okukutulugunya Dr Kiiza Besigye akyusiddwa nga kati atwaliddwa ku kitebe kya bambega

Amyuka omwogezi wa poliisi Polly namaye agambye nti okulondebwa kwa luno kugendereddwaamu kuziba bituli naddala mu wofiisi y’aboogezi.