Amawulire

Mbabazi akyalidde ab’amaka ga Amin

Mbabazi akyalidde ab’amaka ga Amin

Ali Mivule

February 9th, 2016

No comments

Eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi akyaliddeko ab’enju y’omugenzi Idi Amin ng’ono yaliko omukulembeze w’eggwanga. Mbabazi agambye nti ebyakolebwa ba jjajja ffe tebisaanye kussibwa ku bazzukulu kale ng’abantu ba idi Amin tebalina kunenyezebwa ku byaliwo Mbabazi era asabye abantu okutabagana yadde baba nga bafunye obutakkaanya Bw’amaze […]

Abalunyanja tebamira ddagala

Abalunyanja tebamira ddagala

Ali Mivule

February 9th, 2016

No comments

Okunonyereza okukoleddwa kulaga nti yadde gavumenti etaddewo enteekateeka ezirwanyisa endwadde z’ebiwuka ku myaalo, abavubi tebazikozesa Alipoota eno ekoleddwa abe Makerere n’abalwanyisa endwadde ezireetebwa ebiwuka Okunonyereza kuno kwakoleddwa ku bizinga bye Koome era ng’abakukoze mwebaayise okuzuula nti yadde abamu bagenda n’okufuna eddagala, tebalikozesa Abanonyereza bano abakulembeddwaamu […]

Emotoka ziboyeddwa

Emotoka ziboyeddwa

Ali Mivule

February 9th, 2016

No comments

Ab’ekitongole ekiwooza ekya Uganda revenue Authority baliko emmotoka ezaali zabbibwa ezikwasiddwa ekitebe kya Bungereza mu Uganda Amyuka akulira poliisi y’ensi yonna mu ggwanga Oyo Nyeko Benson agamba nti emotoka zino zabbibwa mu bibanda ebitali bimu mu Bungereza nebaziyingiza wano mu mankwetu Akulira ekitongole ekiwooza Doris […]

Ogwa Zuma okulongoosa amaka ge gutandise

Ogwa Zuma okulongoosa amaka ge gutandise

Ali Mivule

February 9th, 2016

No comments

Kkooti ey’okuntikko mu South Africa etandise okuwulira omusango ogwawaabwa abavuganya gavumenti nga bagaala pulezidenti ali mu ntebe Jacob Zuma akomyeewo ensimbi zeyakozesa okuddabiriza amaka ge. Alipoota eyakolebwa mu mwaka 2014 eraga nti Zuma yali alidde nga mulimi bweyawaayo enyumba ye erongoosebwa ng’essibwaako n’ekidiba ekiwugirwaamu. Zuma […]

Muneesige- Ragga Dee

Muneesige- Ragga Dee

Ali Mivule

February 9th, 2016

No comments

Omuyimbi Daniel Kazibwe amanyidwa nga Ragga Dee asabye abantu b’omu Kampala okumulonda olwo afUuke jjaja wa Kampala. Bino abyogeredde mu Kampala gy’abadde ng’atambula abuUza ku basuubuzi wamu n’okusaba akalulu akanamutuusa mu ntebe y’obwa meeya. Ono agaseeko nti abavubuka bangi abatalina mirimu mu Kampala Kyokka nga […]

Museveni akalulu akayizze Mukono ne Wakiso

Ali Mivule

February 9th, 2016

No comments

Pulezidenti Museveni olwaleero atalaaze ebitundu bya Mukono ne Wakiso ng’eno gy’asinzidde neyenyamira olw’obulwadde bwa mukenenya obutevunyiza mu banna wakiso. Kiddiridde abasawo okumutegeeza nti yadde mu Uganda yonna, emiwendo gy’abalina mukenenya giyimiridde ku bitundu 7 ku kikumi, e Wakiso giweza ebitundu 10 ku kikumi. Pulezidenti wano […]

Besigye wakusasula abakosebwa olutalo

Ali Mivule

February 9th, 2016

No comments

Dr Kiiza Besigye alumbye gavumenti olw’okulwaawo okuliyirira abantu b’omu bukiikakkono abakosebwa olutalo lwa Kony. Ng’awenja akalulu mu bitundu bye Lira, Besigye agambye nti kyannaku nti mu kadde kano, waliwo abatiisatiisa abali mu bukiikakkono bw’eggwanga nti ssinga balonda pulezidenti Museveni ssi bakuliyirirwa. Besigye bano abakakasizza nti […]

Sejusa ssiwakulonda- Asindikiddwa Luzira

Ali Mivule

February 9th, 2016

No comments

Eyali akulira bambega za gavumenti gen Dabid Sejusa kikakasiddwa nti ssi wakwetaba mu kalulu k’aludde ng’awenja. Sejusa asindikiddwa ku meere e Luzira agira yebakayo okutuuka nga 23 omwezi guno. Kiddiridde kkooti y’amaggye etuula e Makindye okusalawo nti ono akyaali munnamaggye era alina okuwozesebwa nga munnamaggye. […]

Temutta Kisiibo

Temutta Kisiibo

Ali Mivule

February 9th, 2016

No comments

Abakulisitu basabiddwa obutakkiriza byabufuzi kusiikiriza kisiibo kyabwe kisembedde nga n’okusiiga evvu kwalunaku lwankya.   Olunaku lwenkya abakulisitu bonna okwetolola ensi lwebasiigibwa evvu nga batandika ennaku z’okusiiba 40. Msgr Gerald Kalumba ow’ekeleziya ya  Christ the King Church wano mu Kampala agamba yadde nga evvu kabonero k’ebweru, […]

Omubaka bamusiiga enziro

Omubaka bamusiiga enziro

Ali Mivule

February 9th, 2016

No comments

Eyesimbyewo ku bukiise bwa Ntenjeru South Fred Baseke yekubidde enduulu ku poliisi olw’efujjo elyeyongedde mu kalulu. Baseke yemulugunya nti waliwo ab’ettima abazze batimbulula ebipande bye nebabyokya mu tawuni ye Kangulumira   Ono era munakuwavu olw’abantu abatanategerekeka abagenda bagatta omusenyu mu sukaali nebagabira abalonzi nti y’amubawadde […]