Amawulire

Endagamuntu zizzeeyo ku ma gombolola

Ali Mivule

February 8th, 2016

No comments

Bannayuganda kati basobola okuddukira endaga Muntu zaabwe ku bitebe by’amagombolola.   Minisitule y’ensonga zomunda w’eggwanga ezijje ku bitebe bya disitulikiti okutuuka ku magombolola okuzisembereza abantu basobole okuzifuna amangu .   Minisita w’ensonga zomunda w’eggwanga Rose Akol agamba endaga Muntu ezisoba mu bukadde 2 bananyini zo […]

Abapoliisi bakuziddwa

Abapoliisi bakuziddwa

Ali Mivule

February 4th, 2016

No comments

Pulezidenti Museveni akuzizza ba ofiisa ba poliisi abawerera ddala 245 Abakuziddwa kuliko Haruna Isabirye, akulira eby’abasawo Dr Moses Byaruhanga n’abalala nga batuuse ku ddaala ly’amyuka ssabapoliisi. Ate mu bafuuse ba siniya kamisona kuliko Benjamin Namanya,Charles Asaba n’abalala Ate abafuuse ba kamisona ba poliisi kuliko James […]

Abaguza poliisi emmere bediimye

Abaguza poliisi emmere bediimye

Ali Mivule

February 4th, 2016

No comments

Abaguza poliisi emmere balinnye mu Kyoto nga baweze obutaddamu kubawa mmere okutuuka nga basasuddwa Muno mulimu ababawa akawunga, ebijanjaalo, sukaali, enyama n’amanda nga bagamba nti ensimbi zebabanja mpitirivu. Abamu ku bano babanja obuwumbi busatu nga bagamba nti minisitule ekola ku nsonga z’omunda mu ggwanga yakola […]

Bannamateeka ba Sejusa bawaddeyo okweyimirirwa kwaabwe

Bannamateeka ba Sejusa bawaddeyo okweyimirirwa kwaabwe

Ali Mivule

February 4th, 2016

No comments

Bannamateeka ba munnamaggye gen David Sejusa bawaddeyo okusaba okutongole eri kkooti y’amaggye nga bagaala omuntu waabwe agire ng’ayimbulwa. Munnamateeka we David Mushabe ategeezezza nti atwala kkooti eno omukulu Levi Karuhanga mu butongole efunye okusaba kwaabwe. Sejusa ku lw’okubiri yasindikibwa e Luzira ng’ogumuvunaanibwa gwakweyisa mu ngeri […]

NRM egabye ssente- Abamu bagamba ntono, bannakyeewa banyeenya mitwe

NRM egabye ssente- Abamu bagamba ntono, bannakyeewa banyeenya mitwe

Ali Mivule

February 4th, 2016

No comments

Keetalo kenyini ku kitebe ky’ekibiina kya NRM e Kyaddondo nga ba memba abesimbyewo ku bifo ebyenjawulo baweebwa ensimbi z’okuddukanya kampeyini zaabwe. Abesimbyewo okukiikirira abakyala ku disitulikiti bafuna obukadde 25 sso nga abesimbyewo ku bukiise ba palamenti abalala bagabana obukadde 20 buli omu. Ba ssentebe ba […]

Abasomesa baleese owaabwe mu palamenti

Abasomesa baleese owaabwe mu palamenti

Ali Mivule

February 4th, 2016

No comments

Abasomesa mu gutundutundu gwa greater gwa Greater Mukono baagala ssentebe w’ekibiina ekibataba Margret Rwabushaija alondebwe ku bukiise bwa plamenti obw’abakozi.   Abasomesa okuva e  Mukono, Kayunga, Buvuma ne  Buikwe bagamba Rwabushaija wakubakiikirira bulungi n’abakozi abalala nga bw’azze alwanirira ensonga z’abasomesa.   Ssentebe w’ekibiina ky’abasomesa eky’obwegassi […]

Mutabaazi omukubi w’emiggo ayiseemu nga tavuganyiziddwa

Mutabaazi omukubi w’emiggo ayiseemu nga tavuganyiziddwa

Ali Mivule

February 4th, 2016

No comments

Ssentebe wa disitulikiti ye Lwengo Geoffrey Mutabaazi ayisemu buterevu nga tavuganyiziddwa oluvanyuma lw’abadde amuvuganya okubigyamu enta. David Bbaale nga yamegebwa  Mutabaazi mu kamyufu ka NRM y’abadde amwesimbyeko nga atalina kibiina wabula asazewo okumulekera .   Bbaale okubivaamu kiddiridde enteseganya ne ssabawandiisi w’ekibiina kya NRM Justine […]

Ababaka bawoozebwe

Ababaka bawoozebwe

Ali Mivule

February 4th, 2016

No comments

Balwanyisa obuli bw’enguzi mu ggwanga basanyukidde ekiragiro kya kkooti  eky’okuggya omusolo ku nsako y’ababaka ba palamenti. Olunaku olweggulo omulamuzi wa kkooti y’ebyobusuubuzi Henry Peter Adonyo y’akkirizza empaaba ya Francis Byamugisha  ababaka bano bagibweko omusolo ku nsako yaabwe okuviira ddala mu mwaka gwa 2004.   Kati […]

Aba poliisi bakyusiddwa

Aba poliisi bakyusiddwa

Ali Mivule

February 3rd, 2016

No comments

Poliisi ekoze enkyukakyuka mu basajja baayo mu kitongole ky’aboogezi Abamu ku bakyusiddwa kwekuli ababadde mu mawanga agaliraanye Uganda nga south Sudan ne Somalia nga bakuuma emirembe n’ekibiina ky’amawanga amagatte Eyali ayogerera poliisi mu Kampala n’emiriraano Ibin Senkumbi atwaliddwa Masaka kati nga y’ayogerera poliisi yaayo. Eyali […]

Akabenje k’enyonyi kasse 3

Akabenje k’enyonyi kasse 3

Ali Mivule

February 3rd, 2016

No comments

Mu ggwanga lya South Africa enyonyi egudde n’etta abantu basatu mu kibuga Johannesburg. Abantu basatu beebasangiddwa mu nyonyi nga bafu bajjo okusinziira ku mikutu gy’amawulire Tekinnamanyika kiki ekivuddeko akabenje