Amawulire

NRM yeeyakasinze okukola kampeyini

Ali Mivule

February 1st, 2016

No comments

Okunonyereza kulaze nga nga ekibiina kya NRM kyekikyakira ku birala mu kunonya akalulu okugenda mu maaso.

Bino bifulumidde mu alipoota efulumiziddwa ab’ekibiina ekilondoola okulonda ekya  Citizens Election Observers Network Uganda.

Okunonyereza kwakolebwa wakati wa November 2015 ne January w’omwak guno nga era kulaze nga NRM bwebabadde baakatalaaga eggwanga ebitundu wakati wa 20 ne 29%, nga FDC ekwata kyakubiri wakati w’ebitundu 17 ne 26% sso nga aba Go Forward bali ku bitundu wakati wa 10-26%.

Eno alipoota yakubiri nga era ebyakafuluma biraga nga ekibiina kya NRM bwebakiyulizza ebipande byakyo mu bitundu bye Bukedi, Buganda n’eddako, Bunyolo ne Kigezi.

Bya FDC okusinga babiyuzizza mu bitundu bye in Bukedi, Teso ne  West Nile.

Ebya Go-Forward basinze kubitimbulula Kigezi, Teso ne West Nile.

NRM y’esinze okutimba ebipande

Ekibiina kya FDC kinokoddwawo nga ekikyasinze okuyisa mu budde bwa kampeyini NRM n’eddako .

Kati nga afulumya alipoota eno, akulira  ekibiina ekilwanirira eddembe ly’obuntu ekya Human Rights Initiative Livingstone Ssewanyana ategezezza nga NRM bwekulembeddemu mu kutalaaga eggwanga nga banoonya akalulu kubanga ekibiina kyabwe kibawa ensimbi okunonya akaluku ekitali ku bibiina ebirala.