Amawulire

Aba NRM bafunye omusubbaawa

Ali Mivule

January 29th, 2016

No comments

Abakyala aba Uganda Women Network bakwasizza aba  NRM omusubbaawa ogwemirembe eri amyuka ssabawandiisi wekibiina Richard Todwong.

Akulira UWONET Rita Aciro, agambye nti omusubbaawa kabonero ka mirembe eri bonna abagala obwa president naddala nga okulonda kusembedde.

Bano bagamba bonna abegwanyiza obwa president balina abawagizi bangi eranga buli omu alina essuubi okuwangula.

Bwabadde abweebwa omusubbaawa guno wali ku kitebbe kya NRM ku luguudo lwe Kyadondo, Todwong asubizza nti bakubunya engiri yemirembe.

Abakya bano balina emisubbaawa 8 egyemirembe egyokuweebwa eri bonna abavuganya kubwa pulezidenti

Eyasoose okufuna omusubbaawa guno ye Maj. Gen Benon Biraaro owa Farmers’ Party.