Amawulire

Abavuganya boogedde ku Sejusa

Ali Mivule

February 1st, 2016

No comments

Ab’oludda oluvaganya gavumenti bategezezza nga eky’amagye okukwata General David Sejusa bwekigendereddwamu okutiisatiisa abalonzi.

Gen. Sejusa mu kiseera kino akuumibwa mu nkambi y’amagye e Makindye nga era asuubirwa okuleetebwa mu kkooti y’amagye olunaku lwenkya.

Omwogezi w’ekibiina kya FDC Ibrahim Ssemujju Nganda agamba wabula kino ssikyakujja bannayyganda ku mulamwa gw’okulondawo ekituufu.

Mungeri yeemu ssabawandiisi w’ekibiina kya DP  Mathias Nsubuga naye ategezezezza nti gavumenti eri mu kakodyo kakutiisatiisa balonzi ekitajja kukola.

Wabula amyuka omuwanika wa NRM  Dr. Kenneth Omona bino byonna abisambazze era n’asaba bannayuganda bonna opkusigala nga bakkakamu.

Agamba engeri sejjusa gyali munnamagye, amagye gakuvaayo ganyonyole lwaki baamukute