Amawulire

Ebigezo bifulumye- abayizi abalenzi bakubye abawala

Ali Mivule

January 29th, 2016

No comments

Minisitule y’ebyenjigiriza efulumizza ebyava mu bigezo bya siniya eyokuna eby’omwaka oguwedde.

Abayizi bakoze bulungi okusinga ku mwaka gwa 2014.

Okusinziira ku ssentebe w’ekitongole ky’ebyebigezo mu ggwanga ekya UNEB Prof Mary Okwakol ,abalenzi bakoze bulungi okusinga ku bawala wabula nga n’abawala nabo bagezezzaako.

Ye ssabawandiisi w’ekitongole kya UNEB Mathew Bukenya ategezezza nga ebigezo by’abayizi 2060 bwebyakwatiddwa olw’okukoppa okusinga ku 1096 ebyakwatibwa mu 2014.

Bukenya ategezezza nga abayizi abasinga bwebayitidde mu ddaala 1, eryokubiri n’eryokusatu.

Biology ne Agriculture g’emasomo agasinze okukolebwa obubi sso nga Chemistry ne Physics byabakubye lwakutaputa bubi bigezo .

Amasomero okuli  Boston High school Entebbe gegamu ku bigezo byago ebyakwatiddwa nga era bakyabanonyerezaako.

Bukenya era ategezezza nga enkuba bweyatataganya enyo entambuza y’ebigezo mu bitundu by’eggwanga ebitali bimu.

Ye minisita w’ebyenjigiriza Jessica Alupo agamba omuwendo gw’ababba ebigezo gweralikiriza.

Avumiridde abasomesa abayamba abayizi okubba ebigezo bino n’ategeeza nga bwekiswaza wabula nga musanyufu nti poliisi yakutteyo dda abamu ku betebye mu kino.

Alagidde UNEB okusazaamu senta z’amasomero gonna agaakoppye.

Minisita Alupo asanyukidde ekya bayizi abewandiisa okutuula ebigezo okweyongera nga akitadde ku nkola ya gavumenti eyabonna basome owa secondary.

Abakulu b’amasomero basobola okuddukira ebigezo by’amasomero gaabwe olweggulo lwaleero .

Oba omuntu asobola okuyita ku ssimu nga agenda mu bubaka n’owandiika ekigambo UCE lekawo akabanga osindike ku 6600.