Amawulire

Lukyamuzi wakuddamu kampeyini olunaku lw’enkya

Ali Mivule

February 1st, 2016

No comments

Omubaka wa Rubaga South John Ken Lukyamuzi addamu okukuba kampeyini olunaku lwenkya mu Ndeeba oluvanyuma lw’okussuuka omusujja gw’ensiri.

Lukyamuzi akkirizza nti omusujja guno gwamukuba wansi olw’obutawummula wabula nga kati bamujanjabye mu ddwaliro e Rubaga nga era kati ali bulungi oluvanyuma lw’okuzirikira ku lukungaana.

 

Lukyamuzi  avuganya ne munnakatemba Kato Lubwama wamu n’wa NRM Faridha Mayanja.