Amawulire

Omukazi asse omwanwe lwa musajja ku musulawo.

Ivan Ssenabulya

March 2nd, 2018

No comments

Bya samuel ssebuliba. Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Bulonzi mu town council ye Kasambya e Mubende omukazi bwakute ejambiya n’atemako omwana we gwazaala omutwe nga entabwe eva ku bbawe kuwasa mukazi mulala. Nabukera Harriet ow’emyaka 30 yaavudde mu mbeera nakakana ku mwanawe gwazaala Jjuuko Akilewo […]

Teddy Cheeye atomeddwa Boda-boda nemutta

Ivan Ssenabulya

March 1st, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya Eyali omulondoozi wemirimu mu kitongole kya ISO Teddy Cheeye afudde. Cheeya atomeddwa ka boda boda e Nakawa bwabdde atambulamu. Cheeye abadde yakadda okuva mu kkomera gyeyamala emyaka 6 bweyasingisbwa emisango gyokubulankanya ensimbi za Global Fund mu mwaka gwa 2009. Omuddumizi wa poliisi […]

Omulamuzi alabudde okugoba ogwo’kuwamba gavumenti

Ivan Ssenabulya

March 1st, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah Omulamuzi wa kooti enkulu Wilson Masalu Musene alabudde okugoba omusango oguvunanibwa abantu 19 abayisiraamu agamabibwa nti bekobaana okwagala okuvunika gavumenti. Kino kidiridde oludda oluwaabi okulemrerewa okuleeta abajulizi baayo, ababde basubirwa okulabikako olwaleero mu kuwlira omusango guno. Omuwaabi wa gavumenti Racheal Bikhole asabyeyo […]

Ababadde basala omukazi obulago e Bweyogerere babakubye amasasi

Ivan Ssenabulya

March 1st, 2018

No comments

Bya Sam Ssebuliba Police eriko abasajja babiri bekubye amasasi agabattiddewo, ngaq bano babadde bakakatanye nomugemera wala nga babadde bagezaako okusala omukazi obulago e Bweyogerere, ku luguudo lwe Jinja mu munispaali eye Kira. Bano kigambibwa nti babade batambulira ku boda boda, gyebawanuseeko okuyimiriza mmotoka kika kya […]

Eyasobya kuwe’myaka 2 akwatiddwa

Ivan Ssenabulya

March 1st, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya Poliisi e Mukono ekutte omuvubuka agamabibwa okukira akaana ak’emyaka 2 nakasobyako. Hassan Kendi owemyaka 18 omutuuze  we Nabuti mu kibuga Mukono yakwatiddwa oluvanyuma lw’okukwatibwa lubona n’akaana  ka mulirwana we. Omuddumizi wa poliisi e Mukono Rogers Sseguya agamba nti bazadde b’omwana ono bamunonyezza […]

Olunnaku lwo’kuliisa abaana ku masomero

Ivan Ssenabulya

March 1st, 2018

No comments

Bya Ritah Kemigisah Gavumenti esabye abakulembeze ku mitendera gyonna, okukunga abantu okudda ku buvunayizibwa bwabwe okuliisa abaana emmere ku masomero. Minister owebyenjigiriza ebya waggulu John Chrysostom Muyingo okwogera bino, abadde ku mikolo gyolunaku lwokuliisa abaana ku Kololo S S. Ategezeza nti 60% ku baana abasoma […]

Museveni awagidde etteeka ku malwaliro go’bugumba

Ivan Ssenabulya

March 1st, 2018

No comments

Bya Sam Ssebuliba Omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni alaze obwetaavu okugayo etteeka okulungamya amalwaliro agajanjaba ekirwadde kyobugumba mu Uganda. Obubaka bwe obumusomeddwa, omumyuka womukubiriza wolukiiko lwe gwanga olukulu Jacob Oulanya bwabadde mu lukungaana olukwata ku kuzaala nobugumba olusokedde ddala mu Africa, olubumbujidde ku Seen […]

Ennyimba za Diamond baziweze

Ivan Ssenabulya

March 1st, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya Ministry yebyamawulire mu gwanga lya Tanzania erangiridde nga bweweze ennyimba za Diamond Platinumz olwokumenya amateeka gebyokumpewo. Ennyimba eziriko akabuuza kuliko Hallelujah ne Waka Waka. Abakulu bemulugunya ku video zennyimba zino, nti maulimu amazina agengeri era agobuwemu, ekikontana nobuwangwa.

Abe Buikwe bagala ssomero

Ivan Ssenabulya

March 1st, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya Abatuuze be Kigaya mu gomboloola ye Najja mu district ye Buikwe bakubye omulanga nti bayamabibweko gavumenti okubasembereza amassomero mu kitundu kyabwe. Bano bategezeza nti essomero lyebalina ku mwalo, abajaasi ba minsita omubeezi owamazzi Ronald Kibule balyonoona. Bino byava ku nkyana ku tteka […]

Owe 16 bamuvunanaana kubeera na mukka gwa poliisi ogubalagala

Ivan Ssenabulya

March 1st, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah Omwana omulenzi ow’emyaka 16 avunaniddwa natalibwa mu kkomera lyabaana e Naguru lwakusangibwa ne kamulali wa police. Mubiru Abdul Rahman avunaniddwa mu kkooti ya City Hall mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka Patrick Talisuna neyegaana omusango gw’okusangibwa n’ebintu bya gavumenti. Kigambibwa nti omwana […]