Amawulire
Dr Kiiza Besigye ayogede kukugobwa kwa Gen kayihura.
Bya samuel ssebuliba. Eyaliko ssenkagale w’ekibiina kya FDC Dr kizza Besigye ategeezeza nga ekyagobezza Gen Kale kaihura bwekitakwatagana nakulemwa mirimo gya police , wabula kutandika kujeemera mukamaawe. Bwabadde ayogerako ne banamawulire wano ku luguudo katonga Besiigye agambye nti munayuganda tagwana kwerimba nti omukulembeze we gwanga […]
Ebibina by’obwanakyewa byagala obubinja mu Police bugibwewo.
Bya Franklin Draku Ebibiiina by’obwanakyeewa bisabye Ssabapolice we gwanga omujja Martin Okoth Ochola okwanguwa okulongoosa ekifananyi kya police kyebagamba nti kibade kiwedewo. Bano okuvaayo kidiridde okugobwa kwa Ssabapolice abadeko Gen Kale Kayihura, nga kwogasse ne mune bwebaba kumbirannye era minister w’obutebenkevu Gen Henry Tumukunde. Twogedeko […]
Kinyenya mutwe yakatta abantu 137
Bya Benjamin Jumbe Ministry yebyobulamu etegezeza nti abantu 137 bebakafa ekirwadde kya kinenya mutwe. Kino kibikuddwa minister webyobulamu Jane Aceng mu lukungaana l;wabanamawulire lwatuzizza. Kino kidiridde eggulire aba NTV lyebafulumizza oluvanyuma lwokutukako mu maka agenjawulo, nebalaga engeri ekirwadde kino gyekitawanyamu abantu. Minister ategeeza nti akayasembyeyo […]
Museveni alina essuubi nti Uganda yakuwangula World Cup
Bya Sam Ssebuliba Omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni agamba nti alina essuubi nti Uganda mu banga eritali lye wala eyolekedde okuwangula ekikoppo kyomupiira bigere mu nsi yonna ekya World Cup. Bwabadde akwasibwa ekikoppo kino ekya FIFA World Cup ekyomwaka 2018 mu maka gobwa president […]
Abatuuze bawakanyizza eteeka ku bulungi bwasi.
Bya Sadat Mbogo. Abatuuze mu Mpigi Town Council bavuddeyo nebawakanya enteekateeka ey’akuyisa eteeka ely’okukola bulungi bwansi ow’obuwaze. Bano nga bakulembeddwamu Lule Hamis batuuzizza olukiiko nebagamba nti obumu kubuwaayiro mu teeka lino bwakubanyigiriza. Bano bagamba nti abakulu okulagira nti buli muntu wakuwaayo essaawa bbiri okukola bulungibwansi […]
Brig. Kasirye Ggwanga afuuse General.
By samuel ssebuliba. Omukulembeze we gwanga Kaguta Museveni aliko abakulu mu magye g’egwanga aga UPDF baakuzizza , nga kuno kwekuli Brigadier Kasirye Gwanga kakano afuuse Major General. Abakuziddwa bonna omugate bali 1,384 , nga bano okusinga beebo abamadaala abawagalu. Kati tutegeezeddwa nti kasirye Gwanga oluvanyuma […]
Ekikopo ky’omupiira ekyensi yonna kituuse mu uganda.
Bya samuel ssebuliba Wetwogerera nga ekikopo ekya world cup kimaze okutuuka mu uganda, era nga e enyonyi ekireese etonye ku kisaawe enteb edakiika ntono e mabega. Kino okutuuka mu uganda kivudde mu gwanga lya south Africa gyekibadde ku lugendo lw’okulambula nsi ezisoba mu 90 nga […]
Abazadde baagala amasomero ga Bridge gaggulwe.
Bya Ndaye Moses. Abazadde abalina abaana mu masomero aga Bridge international agaze gagalwa bategeezeza nga bwebaagala okuwayaamu ne minisita akola ku by’enjigiriza Janet Museveni boogere ku nsonga y’amasomero gano agasoba mu 60 agaze gagalwa. Bano nga bakulembedwamu ssabawandiisi w’ekibina ekitaba abazadde nabasomesa ekya […]
Banabyabufuzi basanyikidde okugobwa kwa Kayihura.
Bya Ritah kemigisa. Amangu dala nga omukulembeze we gwanga Kaguta Museveni yakakyusa sabapolice we gwanga Gen Kale Kayihira , ko ne minisita akola ku butebenjevu Gen Henry Tumukunde ,nakati bannabyabufuzi bakyagenda mu maaso n’okujaganya olw’amawulire gano. Olunaku pulezidenti yalonze Martin Okoth Ochola nga ssabapolisi, […]
Lumumba asabye obumu mu kibiina
Bya Benjamin Jumbe Ssabawandiisi wekibiina kya NRM Justine Kasule Lumumba asabye wabeewo obumu mu kibiina, nokukomya okwogera kuno na kuli. Bino abyogeredde mu Jinja East gyabadde agenze okunonyeza Nathan Igeme Nabeta akalulu mu kwetegekera akalulu akokuddibwamu akabindabinda. Eno sabye abaayo okukola enkalala ezaabo abakoseddwa, nga […]