Amawulire

Dr Kiiza Besigye ayogede kukugobwa kwa Gen kayihura.

Ivan Ssenabulya

March 6th, 2018

No comments

Bya samuel ssebuliba.

Eyaliko ssenkagale w’ekibiina kya FDC  Dr kizza Besigye  ategeezeza nga ekyagobezza Gen Kale kaihura bwekitakwatagana nakulemwa mirimo gya police , wabula kutandika kujeemera mukamaawe.

Bwabadde ayogerako ne banamawulire wano ku luguudo katonga Besiigye agambye nti munayuganda tagwana kwerimba nti omukulembeze we gwanga abade tamany bunafu bwa kayihura wabula bino byonna abade abikweka okutuusa lw’amukooye namugoba

Besigye agamba nti Kayihura waagendedde nga yakamala okufuna ekisanja  ekyokuna, kale nga tekikola makulu okulimba egwanga nti byabade akola president abadde tasiima.

Besigye agamba nti obudde gyebugenze butambulira Kayihura agenza atandika okujemera mukamaawe, nalabika nga alina ebigendererwa ebirara , nadala nga akolagana n’amawanga agatulinaanye okukana nga mukamawa afunyeemu enkenyera.

 

Wabula olunaku lwegulo omwogezi wa government Ofono Opondo yatutegeezeza nti president yagobye kayihura kubanga emirimo gibade gimulemye  okukola.