Amawulire

Brig. Kasirye Ggwanga afuuse General.

Ivan Ssenabulya

March 5th, 2018

No comments

By samuel ssebuliba.

Omukulembeze we gwanga Kaguta Museveni aliko abakulu mu magye g’egwanga aga UPDF baakuzizza , nga kuno kwekuli Brigadier Kasirye Gwanga kakano afuuse  Major General.

Abakuziddwa bonna omugate bali 1,384 , nga  bano okusinga beebo abamadaala abawagalu.

Kati tutegeezeddwa nti  kasirye  Gwanga  oluvanyuma lw’okukuzibwa agenda kuwumulirawo

Ekiwandiiko kyetufunye okuva ew’omumyuka wayogerera amagye ge gwanga Brig Richard Karemire , okukuzibwa kwabano kwakaasiddwa akakiiko  k’amagye ak’okuntiko.

Abalala abakuziddwa kuliko  Brig Steven Rwabantu afuuse Maj Gen  ,Col Charles Wacha afuuse Brig ,Col Charles Byanyima afuuse  Brig  , Col Henry Isoke naye Brig kko nabalala.