Amawulire

Teddy Cheeye atomeddwa Boda-boda nemutta

Ivan Ssenabulya

March 1st, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Eyali omulondoozi wemirimu mu kitongole kya ISO Teddy Cheeye afudde.

Cheeya atomeddwa ka boda boda e Nakawa bwabdde atambulamu.

Cheeye abadde yakadda okuva mu kkomera gyeyamala emyaka 6 bweyasingisbwa emisango gyokubulankanya ensimbi za Global Fund mu mwaka gwa 2009.

Omuddumizi wa poliisi mu Kampala nemiriraano Frank Mwesigwa akakasizza akabenje kano, wabulanga okunonyererza kukyagenda mu maaso.

Pikipiki emutomedde nokutuusa kati tenaterekeka.

Cheeye bamusiba nga 8 April wa 2009 nga kigambibwa nti yabulankanya obukadde 120 ngoluvanyuma yayimbulwa nga 3 March womwaka oguwedde 2017.