Amawulire

Kayihura alagidde nti teri kufulumya mawulire eri ebitongole ebirala

Ivan Ssenabulya

February 23rd, 2018

No comments

Bya Joseph Kato Ssabapoliisi we gwanga Gen Kale Kayihura, ayisizza ekiragiro eri abasirikale ba poliisi bonna, nga tayawudde wa ddaala ki obutagabana mawulire nebitongole ebeikuuma ddembe ebirala. Mu bbaluwa ye gyeyawandiise nga February 21, Gen Kayihura agamba nti yakitegeddeko nti waliwo abasirikale be abayitibwa ebitongole […]

Aba CCEDU bawandikidde omukulembeze we gwanga

Ivan Ssenabulya

February 23rd, 2018

No comments

Bya Sam Ssebuliba Aba Citizens Coalition for Electoral Democracy in Uganda bawandikidde omukulembeze we gwanga olutagajjo lwe bbaluwa, nga bagala abangewo akakiiko akatengererdde okunula mu nkyukakyuka ezetagisa mu mateeka gebyokulonda. Mu bbaluwa gyebawandiise nga February 19th, aba CCEDU bagala kino kikolebweko kubanga omwaka guno, okulonda […]

Abe Kayunga batandise okutta embwa

Ivan Ssenabulya

February 23rd, 2018

No comments

Bya Eria Lugenda Abakulira ekibuga kye Kayunga batandise okutta ebisolo ebitayaya mu kibuga. Bamutandise na kutta embwa ezibadde zitayaya ekiro nemisana ekitadde abatuuze ku bunkenke. Akulira ebyobulamu mu kibuga Dr Daniel Ebberu bwabade ayogerako naffe agambye nti bagenze okutandika okutta  embwa zona nokubowa ebisolo ebirala […]

Amawanga gakyagaanye okusasula obweyamu

Ivan Ssenabulya

February 23rd, 2018

No comments

Bya Benjamin Jumbe Kyankizo nnyo okunoonya ensibuko yensimbi okuvujiririra emirimu gyomukago. Kino kyekimu ku biri ku mwanjo lukungaana lwabakulembeze ba East African Community olwe 19th olujibwako akawuuwo mu Kampala. Wabaddewo okusomozebwa okwamanyi okussa mu nkola ebyo ebikanyiziddwako ngomukago. Omumyuka wa sbabawandiisi womukago Jesca Eriyo atubuliidde […]

Abaliko Obulemu babakubyeko enkata

Ivan Ssenabulya

February 23rd, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya Abantu abaliko obulemu ku mibiri gyabwe mu district ye Mukono ne Buikwe basabye gavumenti okwongera okukola ku bizibu byabwe, okuli okulongoosa ebimbe okubaterako webayita, nokubatusiza obuyambi bwonna obwetagisa. Bano bakubye omulanga ku mukolo bwebabadde baweebwa obugaali 197 nemiggo 35 enkata ebakubiddwako abekitongole […]

Okusomesa abaana kutawaanya abalema

Ivan Ssenabulya

February 23rd, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya Abaliiko obulemu district ye Mukono bawanjagidde gavumenti nebitongole ebigabiriizi byo’buyambi okubakwasizaako mu kusomesa abaana. Bano nga bakulembeddwa kansala waabwe ku gomboloola ye Kimenyedde mu Ssaza lye Nakifuma Abdu Ssekagya Kapere bagamba nti basanga okusomozebwa kubanga omulembe gwabantu abasomye. Bagamba nti obwagazzi okusomesa […]

Eyali omuddumizi wa poliisi e Mukono alabiseeko mu kooti

Ivan Ssenabulya

February 22nd, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah Kooti esnukulumu eyongezaayo okuwulira omusango gweyali omuddumizi wa poliisi e Mukono James Peter Aurien ngawakanya ekibonerezo ekyemyaka 40 ekyamuweebwa, olwokutta mukyala we. Kooti ejjuirwamu eyawa ono ekibonererzo kyokwekabaka mu kkomera emyaka 40. Wabula ono bwabadde alabiseeko mu maaso gabalamuzi 5 ababadde bakulembeddwamu […]

Enguzi mu Uganda ekyagaanye

Ivan Ssenabulya

February 22nd, 2018

No comments

Bya Moses Ndaye Uganda eri mu kiffo kya 151 mu lusengeka lwamwanga agasingamu okulya enguzi, ku mawanga 180 agatunuliddwa. Ssenkulu wekitongole kya Transparency International Uganda, abakoze okunonyereza Peter Wandera, agambye nti Uganda yasigadde mu kiffo kyekimu kyeyalimu mu lusengeka opkwalsemba. Agambye nti mu mawanga gobuvanjuba […]

Obudduuka bwa zzaala bwakuggalwa

Ivan Ssenabulya

February 22nd, 2018

No comments

Bya Damalie Mukhaye Olukiiko olutwala emizannyo gya zzaala nokutebereza olwa National Gaming Board lulangiridde okuggala ebibanda nobudduuka bwa zzaala okwetoola egwanga. Bwabadde ayogera ne banamwulire ku Media Center, akulira olukiiko luno Edgar Agaba agambye nti waliwo omujjuzo ogususse, nga bann-Uganda batwala obudde bungi mu kutebereza […]

Gavumenti ewabuddwa ku Masomo ga sayansi

Ivan Ssenabulya

February 22nd, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya Gavumenti ewabuddwa ku masomo ga science, agasinga okuwa abayizi obuzibu. Okusinziira ku byavudde mu bigezo bya S. 6 ebyakolwa omwaka oguwedde 2017, ebyafulumye olunnaku lwe ggulo abaana bakoze bubi amasomo gano. Kati omukulu we’ssomero lya Seeta High Green Campus Obbo Allan agamba […]