Amawulire

Olunnaku lwo’kuliisa abaana ku masomero

Ivan Ssenabulya

March 1st, 2018

No comments

Bya Ritah Kemigisah

Gavumenti esabye abakulembeze ku mitendera gyonna, okukunga abantu okudda ku buvunayizibwa bwabwe okuliisa abaana emmere ku masomero.

Minister owebyenjigiriza ebya waggulu John Chrysostom Muyingo okwogera bino, abadde ku mikolo gyolunaku lwokuliisa abaana ku Kololo S S.

Ategezeza nti 60% ku baana abasoma mu Uganda tebalya byamisana, era babeera mu njala eyekitalo.

Olunnalu lwa African day of school feeding lwabangibwawo abakulu bamawanga ga Africa mu tabameruka wa AU mu mwaka gwa 2016.

 

Mungeri yeemu abazadde naddala ba taata bawabuddwa okuliisa abaana baabwe, lwebanasobola okusoma bayige.

Ssenkulu wekitongole kya Mwalimu Foundation James asabye amakanisa nemizikiti okusomesa abagoberezi ku bukulu obuli mu kuliisa abaana.