Amawulire
E Mubende akebenje kasse omu.
Bya Magembe Sabiiti. E mubende Omuntu omu afiridde mu kabenje n’abalala basatu nebafuna ebisago mu kibuga Mubende, Motoka ekika kya Primio namba UAT 720b bwetomedde abantu babiri ababadde batambulira ku bodabooda ey’ekika kya bajaj boxer . Afudde tategerekese manya songa abantu ababiri ababadde mu motoka […]
Akakiiko kasalawo leero ku by’okusisinkana Kadaaga.
Bya Samuel Ssebuliba. Akakiiko ka Parliament akakwasisa empisa olwaleero kagenda kutuula kategeke kyekazaako wakati mu kunonyereza ku nkayana eziri wakati wa sipiika Rebecca Kadaga ne minister omubeezi ow’ebyetaka Persis Namuganza. Sabiiti ewedde minister Namuganza y’alabikako mu kakiiko kano n’alumiriza speaker okweyingiza mu nsonga z’ekitundu ky’atwala […]
Omukulembeze we gwanga wakusisinkana ssabasumba wa kampala.
Bya ben jumbe. Omukulembeze we gwanga Kaguta Museveni ne ssabasumba we saza lya Kampala Dr Cyprian Kizito Lwanga bakaanyiza okubaako akafunda webatuula bakaanye ku nsonga ezibaawula. Bino webigidde nga ssabasumba y’akategeeza egwanga nga bwewaliwo abakessi government beyamuteekako, nga balowooza nti alina olukwe olw’okuvunika obukulembeze obuliko. […]
Abaana 21 Bebazaliddwa mu malwaliro
Bya Ivan Ssenabulya Ekifananyi kijiddwa mu bikadde Abaana amakumi 21 bebazaliddwa mu malwaliro agenjawulo e Mukono ku lunnaku lwa Easter. Abasawo mu ddwaliro lya Mukono Church of Hospital bategezezza nti abakyala 2 bebasumulukuse nga bonna bazadde abaana balenzi. Ate mu ddwaliro lya Mukono Heallth Center […]
Police mu kampala eyodde 200 ku Mazuukira.
Bya Kato Joseph. Kifananyi kikadde. Wano mu Kampala, agavaayo galaga nga police bweyakutte abantu abasukka mu 200 nga bano balangibwa kwetaba mukuzza misango mu gandaalo lya Easter. Twogedeko n’aduumira police mu Kampala n’emiriraano Frank Mwesigwa, n’agamba nti mubakwate mulimu abagoba b’emotoka 100 nga bano baakwatiddwa […]
Ssabalabirizi yeekokkodde obwavu naddala mu byalo.
Bya Shamim Nateebwa. Ssabalabirizi we kanisa ya uganda kitaffe mu katonda Stanley Ntagali alazze obw’enyamivu olw’obwavu obusukiridde mu banayuganda bwabagambye nti bulese bangi nga bajjudde emitaafu byenyi, kko n’okubeera mu bulamu obuteyegaaza. Bweyabadde abuulira mu kanisa eya all Saints wano e Nakasero mu Kampala, ssabalabirizi […]
Abatuuze be Mbale baaniriza kooti ya Ssemateeka.
Bya Fred Wambedde & Arthur Wadero Nga ebula enaku mukaaga zokka kooti ya ssemateeka okutandika okuwulira omusango ogw’okujja ekomo ku myaka gy’omukulembeze we gwanga, bo abatuuze be Mbale ewagenda okukutuula kooti ya ssemateeka bawadde endoowoza zaabwe ku kusalawo kuno. Abamu kubatuuze bwetwogedeko nabo bagamba […]
Laddu esse abantu 3 e Iganga.
Bya Abubaker Kirunda. Mu district ye Iganga abantu basatu bafudde nga kino kidiridde ladu okubakuba nga beggamye enkuba. Abafudde kuliko Muniru Dembere owemyaka 40 Rashid Mutebe owemyaka b27 nga kwogase ne Ronal Okware nga bonna batuuze be Bukasero mu gombolola ye Bukaatube . Moses […]
Abanadiini balabudde omukulembeze we gwanga ku bamulimba.
Bya Samuel Ssebuliba. Ssabasumba w’esaza ekulu elya kampala Dr cyprian kizito Lwanga alabudde omukulembeze we gwanga okukoma okugendera ku ngambo ezimugambibwa abantu, okukakana nga atandise okulowooza nti amadiini gagaala kumujja mu buyinza. Bwabadde abuulira mumisa efundikidde okutambuza omusalaba wali ku Old kampala, Ssabasumba agambye nti […]
Government yeewoze ensimbi okuzimba emyala gya Kampala.
Bya Samuel Ssebuliba. Mumalala Parliament ekirizza government okwewola ensimbi obukadde bwa dolla 26 nga zino zakukosebwa mukumaliririza omulimo ogw’okuyonja kampala wansi wa Kampala Sanitation Program. Kinajukirwa nti mu mwaka gwa 2009, Government yewola ensimbi okuva mu African Development bank okuzimba emyala, ko n’okuzimba emidumu egitambuza […]