Amawulire

Police mu kampala eyodde 200 ku Mazuukira.

Ivan Ssenabulya

April 2nd, 2018

No comments

Bya Kato Joseph.

Kifananyi kikadde.

Wano mu Kampala, agavaayo galaga nga police bweyakutte abantu abasukka mu 200 nga  bano balangibwa kwetaba mukuzza misango mu gandaalo lya  Easter.

Twogedeko n’aduumira police mu Kampala n’emiriraano  Frank Mwesigwa,  n’agamba nti mubakwate mulimu  abagoba b’emotoka 100  nga bano baakwatiddwa nga bavuga ate nga  batamidde, songa abasigadde baakwatidwa lwakwenyigira mumisango na okunyakula obusawo, okumenya amayumba kko nebirara.

Mwesigwa agamba nti abamu kuno  baakwatibwa ku lunalaku lwa kubo lya musaalaba, songa abalala baggidwa mubifo omwabadde okusaba gamba nga Rubaga, Nsambya, Mbuya, Namirembe, Kansanga n’ewalala.