Amawulire

Omukulembeze we gwanga wakusisinkana ssabasumba wa kampala.

Ivan Ssenabulya

April 3rd, 2018

No comments

Bya ben jumbe.

Omukulembeze we gwanga Kaguta Museveni ne ssabasumba we saza lya Kampala Dr Cyprian Kizito Lwanga  bakaanyiza okubaako akafunda webatuula bakaanye ku nsonga ezibaawula.

Bino webigidde nga ssabasumba y’akategeeza egwanga nga bwewaliwo abakessi government beyamuteekako, nga balowooza nti alina olukwe olw’okuvunika obukulembeze obuliko.

E kiwandiiko ky’etufunye okuva mu maka g’obwa president kiraga nga  bano bwebaayogeraganyiza ku  simu nebakaanya okusisinkana maaso ku maaso, ekyo nakyo kiggwe.

Kinajjukirwa nti bweyali abuulira ku lunaku olw’okutambuza kubo lya musalaba sabasumba yagamba nti waliwo eyamukubira esimu n’amutegeeza nti government ekitegedeko nti ayagala kuwamba government, kyoka n’amulabula nti yandifuuka nga Bishop Janana Luwumu eyattibwa Idi Amin.

Kati tutegezeddwa nti abakulu bano bagenda kusinkana bamalewo obutakaanya buno obuyinza okukula.