Amawulire

Ssabalabirizi yeekokkodde obwavu naddala mu byalo.

Ivan Ssenabulya

April 2nd, 2018

No comments

Bya Shamim Nateebwa.

Ssabalabirizi we kanisa ya uganda kitaffe mu katonda Stanley Ntagali  alazze obw’enyamivu olw’obwavu obusukiridde mu banayuganda bwabagambye nti bulese bangi nga bajjudde emitaafu byenyi, kko n’okubeera mu bulamu  obuteyegaaza.

Bweyabadde abuulira mu kanisa eya all Saints wano e Nakasero mu Kampala, ssabalabirizi yagambye nti  kiruma okulaba nga abantu nadala mu byalo tebakyalina kaakulya, school fees zaafuka zakuwamma, kale nga kino kituuse n’okubakadiya nga bakyali bato.

Kati ono agamba nti ekyamangu kigwana okukolebwa okutaasa embeera kubanga  eno yensonga lwaki obufumbo butandise okumenyaka, ko n’obumenyi bwamateeka  okweyongera.