Amawulire

Ebibiina by’obufuzi byakuggalwa

Ali Mivule

July 16th, 2013

No comments

Akakiiko akakola ku byokulonda keekubidde enduulu mu kooti nga kagaala ebibiina by’obufuzi 10 biwandukululwe Ebibiina bino biremereddwa okulaga wa gyebiggya ensimbi eziddukanya emirimu Munnamateeka w’akakiiko kano, Patrick Byakagaba agamba nti ebibiina bino bafubye okubijjukiza naye nga butereere Ebibiina ebyogerwaako mwemuli Action party, Bridge party, progressive […]

Lwaki temusasula bakozi-Spiika Kadaga

Ali Mivule

July 16th, 2013

No comments

  Spiika wa palamenti Rebecca Kadaga alagidde ministry ekola ku nosnga z’abakozi okuleeta alipoota ennambulukufu ku misaala gy’abakozi ba gavumenti egikyabuze Kadaga agamba nti palamenti bagissa ku nninga okuyisa embalirira ey’enjawulo kyokka nga kyewunyisa nti ensimbi zino ezayisibwa tezizingiramu misaala gya bakozi ba gavumenti Ababaka […]

Teri Cholera

Ali Mivule

July 16th, 2013

No comments

Oluvanyuma lw’abanonyi bobubudamu okuva e congo okweyongera okweyiwa mu ggwanga, Ministry y’ebyobulamu eri bulindaala okwanganga endwadde eziyinza okubalukawo.   Waliwo okutya nti endwadde nga cholera ne Ebola zandibalukawo.   Omwogezi wa Ministry eno , Rukia Nakamatte agamba bakebedde abaabadde balwadde ekidukano  naye tebanazuula alina cholera. […]

Abasomesa e Makerere bazzeemu

Ali Mivule

July 16th, 2013

No comments

Abasomesa ba university ye Makerere  begasse ku banaabwe okuteeka wansi ebikola okutuusa nga bongezeddwa omusaala. Bagamba omweezi ogujja, okujjako nga bongezeddwa omusaala ebitundu 100% kikafuwe okulinya mu bibiina okusomesa. Sentebe wekibiina ekigatta absomesa mu University eno Muhamed Kigundu, agamba gavumenti tebasuubira mu bibiina olusoma olugya […]

Akasattiro

Ali Mivule

July 16th, 2013

No comments

Wabaddewo akasattiro ku kizimbe kya workers house mu kampala, akade k’omuliro bwekavuze mu butanwa. Abeerabiddeko n’agaabwe bagamba nti omu ku balongoosa mu butanwa akoonye ku kade akawogganidde waggulu abakozi bonna tebatandika okudduka. Bangi balabiddwaako nga balwanira emiryango egifuuse emitono mu kadde eko. Akulira abakuumi ba […]

Kkampuni y’amazzi ga Eco Fresh eggaddwa

Ali Mivule

July 16th, 2013

No comments

Ab’ekitongole ekikola ku mutindo ekya UNBS kigadde kkampuni ekola amazzi g’okunywa eya Ecofresh. Kkampuni eno esangibwa ku luguudo lwa Spring close Bugoloobi. Amazzi gano kigambibwa okuba nga gabadde gakolerwa wajama era nga gassa obulamu bw’abantu mu matigga. Akulembeddemu ekikwekweto ekiggala kkampuni eno, Martin Imalingat agamba […]

Nyakairima asoyezeddwa ebibuuzo

Ali Mivule

July 15th, 2013

No comments

Eyali aduumira amaggye g’eggwnaga Gen Aronda Nyakairima olwaleero kyadaaki alabiseeko mu kakiiko akasunsula abalondebwa okufuuka ba ministera n’asoyezebwa kajogijogi w’ebibuuzo. Guno gubadde mulundi gw akubiri ng’akikola era ng’ogwasooka ebibuuzo byaggyawo olw’ensonga nti ono yali talekulidde kuva mu maggye.   Nga yakafuluma okuva mu kakiiko, Nyakairima […]

Abayisiraamu tebatidde bulwadde-Tugenda Mecca

Ali Mivule

July 15th, 2013

No comments

Abayisiraamu mu Uganda abateekateeka okugenda e Mecca bagamba nti bakusigala ku nsonga eno yadde wabaluseewo obulwadde mu ggwanga lya Saudi Arabioa Ekirwadde kino ekyabaluseewo kikosa okussa kw’omuntu era nga kitera okutwaanya abantu ababeera mu mawanga ga Buwarabu.. Abakungu mu byobulamu mu ggwnaga lya Saudi balabudde […]

Obuganda busomye embalirira

Ali Mivule

July 15th, 2013

No comments

Olukiiko lwa Buganda lusomeddwa embalira ya buwumbi 7 mu myezi omukaaga,egyisooka mu mwaka gw’ebyensimbi 2013/2014.  Bwabadde asoma embalirira eno , omuwanika wa Buganda owek. Eva Nagawa, agambye nti ensimbi ezisinga obungi zaakuva mu kitongole kya Buganda land board n’okutunda certificate.   Eva Nagawa era ategezeza […]

Emmotoka esse omupoliisi

Ali Mivule

July 15th, 2013

No comments

Omusirikale wa police atomeddwa emotoka nafiirawo. Assistant Superintendent of Police Wyclif Kamanyira  yaakoneddwa wali e  Bwebajja  ku Luguudo lw’entebe. Ono akooneddwa  Henry Kimera 26, abadde avulumula emotoka yekika kya  Subaru imprezza UAF 726 M. Atwaala police ye  Kajjansi Ibrahim Saiga agamba Kimera abadde atamidde era […]