Amawulire

Emmotoka esse omupoliisi

Ali Mivule

July 15th, 2013

No comments

Omusirikale wa police atomeddwa emotoka nafiirawo.

Assistant Superintendent of Police Wyclif Kamanyira  yaakoneddwa wali e  Bwebajja  ku Luguudo lw’entebe.

Ono akooneddwa  Henry Kimera 26, abadde avulumula emotoka yekika kya  Subaru imprezza UAF 726 M.

Atwaala police ye  Kajjansi Ibrahim Saiga agamba Kimera abadde atamidde era olumaze okutomera omusirikale ayongedde kuvuga.

Oluvanyuma akwaatiddwa omusirikale wa police omulala e kajjansi  alabye emotoka ye nga egoomye.

Omugenzi y’abadde amyuuka akulira ebikwekweto bya police ku luguudo lw’entebe era omulambo gwe gutwaaliddwa mu ddwaliro e Mulago nga n’omukwaate bw’akyakumibwa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *