Amawulire

Abayisiraamu tebatidde bulwadde-Tugenda Mecca

Ali Mivule

July 15th, 2013

No comments

Abayisiraamu mu Uganda abateekateeka okugenda e Mecca bagamba nti bakusigala ku nsonga eno yadde wabaluseewo obulwadde mu ggwanga lya Saudi Arabioa

Ekirwadde kino ekyabaluseewo kikosa okussa kw’omuntu era nga kitera okutwaanya abantu ababeera mu mawanga ga Buwarabu..

Abakungu mu byobulamu mu ggwnaga lya Saudi balabudde dda abagenda ku lugenda olutukuvu okwetegekera endwadde eno.

 

Omwogezi w’ekitebe ekikulu eky’obuyisiraamu, Hajji Nsereko Mutumba agamba nti bategeezeddwa ku ndwadde eno kyokka nga ssibakusazaamu nteekateeka yakutwaala bantu ku lugendo olutukuvu.

Abayisiraamu bannayuganda 150 beebasuubirwa okugenda okulamaga.

Uganda ku mulundi guli yagaanibwa okusindika abalamazi olw’obulwadde bwa Ebola ebwaali buzinzeeko eggwanga.